Pular para o conteúdo
Publicidade

Mãe

Por Bíblia Online

A mãe é honrada na Bíblia como pilar da família. Seu amor incondicional, sua sabedoria e sua dedicação são celebrados como reflexo do próprio amor de Deus por seus filhos.

O amor de mãe

Pode uma mãe esquecer-se do filho do seu ventre? Ainda que ela se esquecesse, Deus nunca nos abandona. O amor materno reflete o divino.

Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina,

bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyi

mu Yerusaalemi."

Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;

era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.

Balina omukisa abatya Katonda;

era abatambulira mu makubo ge.

Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;

oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.

Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

Sabedoria e instrução

A mãe sábia instrui os filhos nos caminhos de Deus. Seu ensino é lei que guia e sua disciplina é expressão de amor verdadeiro.

Amagezi eri Abavubuka

Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,

era tolekanga kukuutira kwa maama wo;

bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,

n’emikuufu mu bulago bwo.

Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,

ne bw’alikula talirivaamu.

Atakozesa kaggo akyawa omwana we,

naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.

Omwana omugezi asanyusa kitaawe,

naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.

"Ekikulu, weekuume nnyo nga weerabirira mu ngeri gye weeyisaamu, olemenga kwerabira ebyo byonna amaaso go bye gazze galaba oleme okubiganya okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo. Biyigirizenga abaana bo, nabo babiyigirizenga abaana baabwe.

Honrar a mãe

Honra teu pai e tua mãe. A mulher virtuosa é digna de louvor — seus filhos se levantam e a chamam bem-aventurada.

Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

Abazadde n’Abaana Baabwe

Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. "Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa," eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi.

Omukazi ow’Amagezi

Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?

Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.

Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,

era tatya ebiro ebigenda okujja.

Ayogera n’amagezi,

era ayigiriza ebyekisa.

Alabirira nnyo empisa z’abomu nnyumba ye,

era talya mmere ya bugayaavu.

Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,

ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,

"Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa

naye bonna ggwe obasinga."

Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,

naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.

Seja o primeiro

Este artigo te tocou? Faça uma oração!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.