Publicidade

Marido e mulher

Por Bíblia Online

O casamento é aliança sagrada entre marido e mulher, instituída por Deus desde o Éden. A Bíblia define papéis complementares fundados em amor, respeito e fidelidade mútua.

Instituição divina

Deus criou homem e mulher e os uniu em uma só carne. O casamento é projeto divino que reflete o amor de Cristo pela Igreja.

Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,

mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;

n’abatonda omusajja n’omukazi.

Mukama Katonda n’ayogera nti, "Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira."

Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.

Yesu n’abaddamu nti, "Temusomanga nti, Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja n’omukazi, era nti, Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu, nga tebakyali babiri naye omuntu omu.Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."

Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.

Papéis no casamento

O marido ama e a mulher respeita. Ambos se submetem voluntariamente a Deus e um ao outro, em parceria e unidade.

Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye,

Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.

Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.

Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

Abakyala ne ba Bbaabwe

Abakazi abafumbo, mu ngeri y’emu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw’empisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye. Kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennungi nga mubassaamu ekitiibwa.

Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga n’obwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga.

Fidelidade e união

O casamento é honroso e deve ser preservado com fidelidade. O cordão de três dobras não se rompe facilmente.

Ababiri basinga omu,

kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.

Kubanga singa omu agwa,

munne amuyimusa.

Naye zimusanze oyo ali obw’omu,

bw’agwa tabaako amuyimusa.

Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;

naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?

Omu awangulwa mangu,

kyokka ababiri bayinza okwerwanako.

Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.

Omukazi ow’Amagezi

Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?

Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.

Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,

era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.

Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,

era aganja eri Mukama.

Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,

naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,

naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.

Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,

era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.

Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,

leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.

Permanecer juntos

O que Deus uniu, o homem não separe. A Bíblia protege o casamento e orienta sobre convivência, perdão e perseverança conjugal.

Obufumbo

Kaakano ku bintu bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. Naye olw’ebikolwa eby’obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba. Omusajja ateekwa okutuukirizanga eby’obufumbo byonna eri mukazi we era n’omukazi bw’atyo. Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza. Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga ery’okusabiramu n’oluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olw’obuteefuga bwammwe.

Naye abafumbo mbawa etteeka eriva eri Mukama waffe: omukazi tanobanga ku bba. Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; n’omusajja tagobanga mukazi we.

Kyokka oyo atali mukkiriza bw’ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo omusajja omukkiriza oba omukyala taasibwenga mu ekyo, kubanga Katonda ayagala abaana be okubeera n’eddembe. Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ng’olirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza omanyi otya ng’olirokola mukazi wo?

Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bw’aba ng’akyali mulamu. Naye bba bw’afa, omukazi oyo ng’asumuluddwa mu tteeka eribagatta.

Amateeka Agatali Gamu

Omusajja bw’anaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ng’ogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ng’asanyusa mukazi we gw’anaabanga awasizza.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-