Pular para o conteúdo
Publicidade

Milagres de Jesus

Por Bíblia Online

Os Evangelhos registram dezenas de milagres realizados por Jesus — curas, ressurreições, domínio sobre a natureza e libertações. Cada milagre revelava sua divindade e compaixão.

Curas de cegos e surdos

Jesus devolveu a visão aos cegos e a audição aos surdos, manifestando seu poder sobre toda enfermidade e deficiência.

Yesu Awonya Bamuzibe ne Bakiggala

Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, "Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!"

Bwe yatuuka mu nju, bamuzibe ne bajja w’ali. Yesu n’ababuuza nti, "Mukkiriza nga nnyinza okubazibula amaaso?" Ne bamuddamu nti, "Weewaawo, Mukama waffe."

Awo n’akoma ku maaso gaabwe n’abagamba nti, "Kale, olw’okukkiriza kwammwe, kye musabye mukiweereddwa." Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n’abakuutira nnyo baleme kubuulirako muntu yenna ng’abagamba nti, "Mulabe nga tewaba n’omu ategeera bibaddewo." Naye bwe baava awo, ne bagenda nga basaasaanya ebigambo ebyo, nga babuulira buli muntu gwe baasisinkananga mu kitundu ekyo.

Yesu Azibula Bamuzibe Babiri

Awo Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bava mu kibuga Yeriko, ekibiina kinene ne kimugoberera. Abazibe b’amaaso babiri abaali batudde ku mabbali g’ekkubo bwe baawulira nga Yesu ayita mu kkubo eryo, ne baleekaanira waggulu nnyo nga bakoowoola nti, "Ssebo, Omwana wa Dawudi, otusaasire!"

Ekibiina ne kibalagira okusirika, naye bo, ne beeyongera bweyongezi okukoowoolera waggulu nga boogera nti, "Ssebo, Omwana wa Dawudi, tusasire."

Yesu bwe yabatuukako n’ayimirira n’ababuuza nti, "Mwagala mbakolere ki?"

Ne bamuddamu nti, "Mukama waffe, twagala otuzibule amaaso."

Yesu n’abasaasira n’akwata ku maaso gaabwe amangwago ne gazibuka, ne bamugoberera.

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso mu Besusayida

Awo bwe baatuuka mu Besusayida, ne wabaawo abantu abaamuleetera omusajja omuzibe w’amaaso, ne bamwegayirira amukwateko. Yesu n’akwata omuzibe w’amaaso ku mukono n’amufulumya ebweru w’akabuga ako. N’awanda amalusu ku maaso g’omusajja n’agakwatako, n’amubuuza nti, "Kaakano waliwo ky’olaba?"

Omusajja n’amagamaga, n’addamu nti, "Yee! Ndaba abantu kyokka balabika ng’emiti egitambula."

Yesu n’ayongera okukwata ku maaso g’omusajja, omusajja n’azibuka amaaso n’awonera ddala buli kintu n’akiraba bulungi. Yesu n’amutuma mu maka g’ewaabwe ng’amugamba nti, "Toddayo mu kyalo."

Yesu bwe yava mu Ttuulo n’agenda e Sidoni, eyo gye yava n’addayo ku nnyanja ey’e Ggaliraaya ng’ayitira mu "Bibuga Ekkumi" (Dekapoli). Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu w’amatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.

Yesu n’aggya omusajja mu bantu n’amulaza wabbali, n’assa engalo ze mu matu g’omusajja; n’awanda amalusu, n’agasiiga n’olunwe lwe ku lulimi lw’omusajja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’assa ekikkowe, n’alyoka alagira omusajja nti, "Efasa!" ekitegeeza nti, "Gguka." Amangwago amatu g’omusajja ne gagguka n’awulira buli kintu era n’ayogera bulungi!

Yesu n’akuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza. Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, "Buli ky’akola kya kyewuunyo, aggula n’amatu ga bakiggala n’ayogeza ne bakasiru!"

Yesu Azibula Battimaayo Amaaso

Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali g’oluguudo. Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, n’atandika okuleekaana nti, "Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!"

Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, "Sirika! Totuleekaanira!" Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ng’addiŋŋana nti, "Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!"

Yesu n’ayimirira n’ayogera nti, "Mumuyite." Ne bayita omuzibe w’amaaso nti, "Guma omwoyo, situka akuyita!" Battimaayo n’asuula eri ekikooti kye, n’asituka mangu n’ajja eri Yesu.

Yesu n’amubuuza nti, "Oyagala nkukolere ki?" Omuzibe w’amaaso n’addamu nti, "Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!"

Awo Yesu n’amugamba nti, "Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza." Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso Omusabiriza

Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza. Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, "Kiki ekyo?" Ne bamuddamu nti, "Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo."

Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, "Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!" Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, "Omwana wa Dawudi, onsaasire!"

Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti, "Kiki ky’oyagala nkukolere?" Omusajja n’addamu nti, "Mukama wange, njagala nziremu okulaba!" Yesu n’amugamba nti, "Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza." Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso

Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso. Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, "Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?"

Yesu n’addamu nti, "Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola. Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi."

Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. N’amugamba nti, "Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu," amakulu nti, "Eyatumibwa". Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.

Curas de paralíticos e enfermos

Paralíticos caminharam, leprosos ficaram limpos e todo tipo de doença foi curada pelo toque e pela palavra de Jesus.

Omusajja omugenge n’ajja gy’ali n’amuvuunamira ng’agamba nti, "Mukama wange, bw’obanga oyagala oyinza okunnongoosa."

Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti, "Njagala, longooka." Amangwago omusajja n’awona ebigenge. Yesu n’amugamba nti, "Laba, tobaako muntu n’omu gw’obuulira, wabula genda weerage eri kabona otwaleyo n’ekirabo nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali."

Amangwago ne bamuleetera omuntu eyali akoozimbye nga bamusitulidde ku katanda. Bwe yalaba okukkiriza kwabwe n’agamba omulwadde nti, "Mwana wange, guma omwoyo, nkusonyiye ebibi byo!"

Naye waaliwo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne boogeraganya bokka na bokka nti, "Omuntu ono avvoola! Alowooza nti Ye Katonda!"

Yesu n’amanya bye balowooza. N’abagamba nti, "Lwaki mubeera n’ebirowoozo ebibi mu mitima gyammwe? Ekyo buli muntu ayinza okukyogera, kubanga kwogera bwogezi. Naye mutegeere nga Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi." Awo n’agamba akoozimbye nti, "Yimirira weetikke akatanda ko, weddireyo ewammwe!" N’ayimirira ng’awonye, ne yeddirayo eka.

Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti. Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire.

Naye n’abaddamu nti, "Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti."

Bw’atyo n’agamba omusajja nti, "Golola omukono gwo." N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo!

Ne basanga nga nnyina muka Simooni agalamidde mulwadde omusujja. Amangwago ne bakitegeeza Yesu. Bwe yamusemberera, n’amukwata ku mukono n’amuyimusa, omusujja ne gumuwonako, n’abaweereza!

Yesu Awonya Omugenge

Awo omugenge n’ajja eri Yesu ne yeegayirira ng’afukamidde mu maaso ge, n’amugamba nti, "Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa." Yesu n’amusaasira, n’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti, "Nsiimye, longooka!" Amangwago ebigenge ne bimuwonako, n’aba mulongoofu.

Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana. Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke. Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, "Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa." Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, "Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?" Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, "Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;" n’agamba eyali akoozimbye nti, "Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo." Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, "Kino tetukirabangako."

Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire. Yesu n’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, "Yimirira wakati." N’abagamba nti, "Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?" Naye ne batamuddamu. Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, "Golola omukono gwo." N’agolola omukono gwe, ne guwona.

Yesu Awonya Omusajja Omugenge

Mu kibuga Yesu mwe yali akyadde mwalimu omusajja eyali alwadde ebigenge. Bwe yalaba Yesu n’avuunama mu maaso ge, n’amwegayirira nti, "Mukama wange, bw’oba ng’oyagala, oyinza okunnongoosa."

Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako, ng’agamba nti, "Njagala, longooka." Amangwago ebigenge by’omusajja ne bimuwonako.

Awo abasajja ne bajja nga basitudde omusajja ku katanda eyali akoozimbye. Ne bagezaako okumuyingiza okumuleeta Yesu we yali. Naye bwe bataasobola kumuyingiza olw’ekibiina ekinene ne balinnya waggulu ku kasolya, ne baggyawo ku mategula ne bayisaamu omulwadde ne bamussa ng’agalamidde ku katanda ke ne baamutereereza ddala mu maaso ga Yesu.

Awo Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omusajja akoozimbye nti, "Omusajja, ebibi byo bikusonyiyiddwa."

Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beebuuzaganya nti, "Ono ye ani avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?"

Nate Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’ababuuza nti, "Lwaki mulowooza bwe mutyo mu mutima gwammwe? Ekyangu kye kiri wa? Okwogera nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti situka otambule? Naye mulyoke mutegeere nti, Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi." N’agamba eyali akozimbye nti, "Situka, ositule akatanda ko, weddireyo ewuwo." Amangwago omusajja n’asituka n’asitula akatanda kwe yali agalamidde, n’addayo ewuwe ng’agulumiza Katonda.

Yesu Awonya Omusajja ow’Omukono Ogukaze

Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu n’omusajja eyalina omukono ogukaze. Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango. Naye Yesu n’ategeera ebirowoozo byabwe. N’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, "Situka oyimirire wakati wano." N’asituka n’ayimirira.

Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, "Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?"

N’abeetoolooza amaaso kinnoomu, n’alyoka agamba omusajja nti, "Golola omukono gwo." Omusajja n’agolola omukono gwe ne guwona.

Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi

Awo Yesu bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo ebyo byonna n’ayingira mu Kaperunawumu. Mu kiseera ekyo, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ng’ali kumpi n’okufa. Omukulu w’ekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, n’atuma abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we. Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, "Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bw’akusabye, kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!" Bw’atyo Yesu n’agenda nabo.

Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu w’ekitongole n’atuma mikwano gye eri Yesu ng’agamba nti, "Mukama wange, teweeteganya bw’otyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange. Era kyenavudde nnema okujja gy’oli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi ekigambo, omuweereza wange anaawona! Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo n’abali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, Genda,agenda, n’omulala nti, Jjangu,ajja; n’omuddu wange nti, Kola kino,akikola."

Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo n’amwewuunya nnyo, n’akyukira ekibiina ky’abantu abaali bamugoberera n’agamba nti, "Mbagamba nti sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri." Awo omukulu w’ekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.

ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola. Yesu n’amulaba, n’amuyita n’amugamba nti, "Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo." N’amukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola n’ayimirira bulungi, n’atendereza Katonda!

Yesu Awonya Omulwadde w’Entumbi ku Ssabbiiti

Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ng’agenze okulya mu nnyumba ey’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso. Waaliwo omusajja omulwadde w’entumbi ng’atudde okwolekera Yesu we yali. Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, "Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?" Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, n’amuwonya, n’amugamba yeetambulire.

Abagenge Kkumi Bawonyezebwa

Awo Yesu bwe yali yeeyongerayo mu lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi, n’akwata ekkubo eriyita wakati wa Ggaliraaya ne Samaliya. Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, "Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!"

Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, "Mugende mweyanjule eri bakabona." Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.

Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.

Yesu n’agamba nti, "Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?" Awo Yesu n’amugamba nti, "Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza."

Yesu Awonyeza ku Kidiba

Oluvannyuma Yesu n’addayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga z’Abayudaaya. Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye. Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa. Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana. Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, "Oyagala okuwonyezebwa?"

Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, "Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda."

Yesu n’amugamba nti, "Situka ozingeko omukeeka gwo otambule." Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira.

Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti.

Yesu n’akomawo mu Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti ow’e Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde. Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi n’okufa.

Yesu n’amugamba nti, "Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?"

Omukungu n’amugamba nti, "Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ng’omwana wange tannafa!"

Awo Yesu n’amugamba nti, "Ggenda mutabani wo awonye!" Omusajja n’akkiriza Yesu ky’amugambye n’agenda.

Naye bwe yali ng’akyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti mutabani we awonye. N’ababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, "Jjo olw’eggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!"

Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, "Mutabani wo awonye." Awo omukungu oyo n’abenju ye bonna ne bakkiriza.

Kino kye kyamagero ekyokubiri Yesu kye yakola ng’akomyewo e Ggaliraaya ng’avudde e Buyudaaya.

A mulher com fluxo de sangue

Uma mulher que sofria há doze anos tocou a orla do manto de Jesus e foi curada instantaneamente pela sua fé.

omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi, okumala emyaka kkumi n’ebiri, n’ajja emabega we n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kye. Kubanga y’agamba mu mutima gwe nti, "Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona."

Yesu n’akyuka n’alaba omukazi n’amugamba nti, "Muwala, guma omwoyo! Owonye olw’okukkiriza kwo." Omukazi n’awonera mu kiseera ekyo.

Mu kibiina omwo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri nga mulwadde ekikulukuto ky’omusaayi. Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi. Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bw’atyo n’ajja nga yeenyigiriza mu kibiina ky’abantu n’atuuka emabega wa Yesu, n’akoma ku kyambalo kye. Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, "Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona." Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto ky’omusaayi ne kikalira n’ategeerera ddala ng’awonye.

Mu kibiina ky’abantu ekyo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri ng’alwadde ekikulukuto ky’omusaayi. Yali atambudde nnyo mu basawo era nga bamumazeeko ebintu bye byonna ng’abasasula, naye ne watabaawo asobola kumuwonya. Omukazi ono n’asemberera Yesu ng’amuvaako emabega, n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kya Yesu, ekikulukuto ky’omusaayi ne kiwona mu kaseera ako kennyini!

Yesu n’abuuza nti, "Ani ankutteko?" Bonna ne beegaana, naye Peetero n’agamba nti, "Mukama waffe, ekibiina ky’abantu kinene abakwetoolodde era abantu bangi bakunyigiriza." Naye Yesu n’addamu nti, "Waliwo ankutteko kubanga mpulidde ng’amaanyi ganvaamu." Awo omukazi bwe yategeera ng’avumbuddwa, n’ajja ng’akankana n’agwa awo mu maaso ga Yesu, n’annyonnyola mu maaso g’abantu bonna ensonga kyeyavudde amukwatako, era nti n’obulwadde bwe bwawoneddewo!

Yesu n’agamba omukazi nti, "Muwala wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe."

Ressurreições

Jesus ressuscitou mortos — a filha de Jairo, o filho da viúva de Naim e Lázaro. Ele é Senhor sobre a morte.

Bwe yali ng’akyayogera nabo omufuzi n’ajja, n’amusinza n’amugamba nti, "Omwana wange omuwala anfuddeko, naye singa ojja n’omukwatako anaalamuka." Yesu bwe yasituka n’abayigirizwa be okugenda mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro,

Awo Yesu bwe yatuuka mu maka g’omufuzi n’asanga abafuuyi b’amakondeere n’ekibiina nga kijagaladde, n’agamba nti, "Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi." Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza. Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu n’ayingira, n’akwata omukono gw’omuwala, n’agolokosa omuwala.

Omukulu w’ekkuŋŋaaniro erinnya lye Yayiro n’ajja n’agwa w’ali, n’amwegayirira nnyo ng’agamba nti, "Muwala wange abulako katono okufa. Nkwegayiridde jjangu omukwateko omuwonye."

Awo Yesu n’agenda naye n’ekibiina ky’abantu kinene ne kimugoberera nga bagenda bamunyigiriza.

Bwe baatuuka mu nju y’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’alaba okwaziirana ng’abantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe. Bwe yayingira mu nju n’agamba abantu nti, "Mwaziiranira ki n’okukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!" Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo.

Naye n’abagamba bonna bafulume mu nju. N’atwala abazadde b’omwana n’abayigirizwa be abasatu n’ayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali. Yesu n’akwata omwana ku mukono n’amugamba nti, "Talisa kumi!" amakulu nti, "Omuwala golokoka!" Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi n’ebiri, n’ayimirira n’atambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo.

Yesu Anenya ab’omu Biseera bye

Awo Yesu n’abuuza nti, "Abantu ab’omulembe guno mbageraageranye na ki? Bafaanana batya? Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagambagana nti,

" Bwe twabafuuyira omulere,

temwazina,

Bwe twayimba oluyimba olw’okukungubaga,

temwakungubaga.

Kubanga Yokaana Omubatiza bwe yajja teyalyanga mmere wadde okunywa omwenge, ne mugamba nti, Aliko dayimooni! Omwana w’Omuntu azze ng’alya emmere era ng’anywa ne mugamba nti, Laba wa mululu era mutamiivu, mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi! Naye amagezi geeragira mu butuukirivu olw’abaana baago bonna."

Omukazi Alina Ebibi Asiiga Yesu Amafuta ag’Akaloosa

Awo omu ku Bafalisaayo n’ayita Yesu ku kijjulo, Yesu n’ayingira mu nnyumba, n’atuula ku mmeeza. Awo omukazi ow’omu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo ey’Omufalisaayo, n’aleeta eccupa y’amafuta ag’akaloosa.

Mu kiseera ekyo ne wajjawo omusajja erinnya lye Yayiro, eyali omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro, n’agwa ku bigere bya Yesu n’amwegayirira ajje mu maka ge, kubanga muwala we omu yekka gwe yalina, eyali aweza emyaka nga kkumi n’ebiri yali afa.

Yesu n’agenda naye, naye ng’ekibiina kimunyigiriza.

Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera omuntu n’atuuka ng’ava mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’agamba Yayiro nti, "Muwala wo afudde! Omuyigiriza toyongera kumuteganya."

Naye Yesu bwe yakiwulira n’amugamba nti, "Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu."

Awo Yesu bwe yatuuka ku nnyumba ya Yayiro, n’atakkiriza bantu balala kuyingira naye mu nju wabula Peetero, ne Yokaana, ne Yakobo, ne kitaawe w’omwana, ne nnyina. Mu kiseera ekyo abantu bonna baali bakaaba nga bakungubagira omwana oyo. Yesu n’abagamba nti, "Mulekeraawo okukaaba! Omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi!"

Ne bamusekerera nnyo, kubanga bonna baali bamanyi ng’omuwala afudde. Naye Yesu n’akwata omuwala eyali afudde ku mukono, n’akoowoola ng’agamba nti, "Mwana wange, golokoka!" Amangwago n’aba mulamu, n’asituka n’ayimirira. Yesu n’abalagira bamuwe ekyokulya. Bazadde b’omuwala ne beewuunya, naye Yesu n’abakuutira obutabuulirako muntu yenna ebibaddewo.

Okufa kwa Laazaalo

Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali. Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze. Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, "Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo."

Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, "Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa." Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali. Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, "Tuddeyo e Buyudaaya."

Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, "Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?"

Yesu n’abaddamu nti, "Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba. Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye."

Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, "Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa."

Abayigirizwa ne bamugamba nti, "Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka." Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.

Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, "Laazaalo afudde.

Domínio sobre a natureza

Jesus acalmou a tempestade, andou sobre as águas e multiplicou pães. A natureza obedece à voz do seu Criador.

Yesu n’ayingira mu lyato n’abayigirizwa be. Awo omuyaga mungi ogw’amaanyi ne gujja ku nnyanja, amayengo amagulumivu ne gaba kumpi okubuutikira eryato. Naye yali yeebase. Abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamuzuukusa nga bagamba nti, "Mukama waffe, tulokole, tusaanawo!"

Yesu n’abaddamu nti, "Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?" N’agolokoka n’aboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja n’eteeka. Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, "Muntu ki ono, omuyaga n’ennyanja gwe bigondera?"

Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, "Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga."

Naye Yesu n’abaddamu nti, "Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya."

Ne bamuddamu nti, "Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri."

N’abagamba nti, "Kale mubindetere wano." N’alagira ekibiina kituule wansi ku muddo, n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu ne yeebaza, emigaati n’agimenyaamenyamu n’agiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina. Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri! Abantu bonna abaalya baali ng’enkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.

Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja.

Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, "Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo."

Abayigirizwa ne bamugamba nti, "Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?"

Yesu n’ababuuza nti, "Mulinawo emigaati emeka?" Ne bamuddamu nti, "Tulinawo emigaati musanvu n’ebyennyanja bitono."

Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi, n’addira emigaati omusanvu n’ebyennyanja, bwe yamala okwebaza, n’abimenyaamenyamu, n’awa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina. Buli muntu n’alya n’akkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu. Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana.

Omusolo gwa Yeekaalu

Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, "Mukama wammwe tawa musolo?"

Peetero n’abaddamu nti, "Awa!"

Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, "Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?"

Peetero n’addamu nti, "Basolooza ku bannamawanga."

Yesu n’amugamba nti, "Kale bannansi bo ba ddembe." "Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri, ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo."

Omuti Ogwawotoka

Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala, n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, "Toddangayo okubala ebibala." Amangwago omuti ne guwotoka.

Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, "Omutiini guwotose gutya amangu?"

Yesu n’abaddamu nti, "Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, Siguka ogwe mu nnyanja,ne kibaawo. Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga."

Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, "Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?"

N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, "Tteeka, sirika." Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.

N’ababuuza nti, "Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?"

Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, "Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?"

Awo obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, "Ekifo kino kya ddungu ate n’obudde buwungedde. Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano."

Naye Yesu n’abaddamu nti, "Mmwe mubawe ekyokulya." Ne bamubuuza nti, "Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?"

Yesu n’ababuuza nti, "Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe." Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, "Waliwo emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri."

Awo Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja. Awo ne batuula mu bibinja, eby’abantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi. Yesu n’atoola emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’ayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. N’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja ebibiri, n’abiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna. Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw’emigaati n’obwebyennyanja ebisero kkumi na bibiri. Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano.

n’abalengera nga bategana n’eryato kubanga waaliwo omuyaga mungi n’amayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ez’ekiro, n’ajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, n’aba ng’ayagala okubayitako. Naye bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu, kubanga bonna baamulaba ne batya.

Naye n’ayanguwa okwogera nabo, n’abagamba nti, "Mugume omwoyo. Ye Nze, temutya." Awo n’alinnya mu lyato, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo.

Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ennya

Mu biseera ebyo, ebibiina ne byeyongera obunene nate, abantu emmere n’ebaggwaako. Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, "Abantu bano bankwasa ekisa, kubanga baakamala nange ennaku ssatu, naye tebalina kyakulya. Singa mbasiibula baddeyo ewaabwe nga tebalidde, enjala ejja kubasuula ku kkubo! Ate abamu bava wala."

Abayigirizwa ne bamubuuza nti, "Emigaati tunaagiggya wa wano mu ddungu eginaamala abantu bano bonna?"

Yesu n’ababuuza nti, "Mulinawo emigaati emeka?" Ne baddamu nti, "Musanvu."

Awo Yesu n’alagira abantu batuule wansi. N’addira emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n’agimenyaamenyamu, n’agiwa abayigirizwa be ne bagitwalira ekibiina ne babagabula. Era baalina wo n’ebyennyanja bitono, nabyo Yesu n’abiwa omukisa n’agamba abayigirizwa be babigabule abantu. Abantu bonna ne balya okutuusa lwe bakkuta, ne bakuŋŋaanya ebyabalema ebisero musanvu ebijjudde. Mu kibiina ekyo mwalimu abantu ng’enkumi nnya. N’abasiibula.

Yesu Akolimira Omuti Ogutabala

Enkeera bwe baali bava e Besaniya, Yesu n’alumwa enjala. N’alengera omutiini, nga guddugazza bulungi amalagala, n’agendayo alabe obanga anaasangako ebibala. Yagenda okugutuukako nga kuliko makoola meereere, kubanga si kye kyali ekiseera kyagwo okubaako ebibala. Awo Yesu n’agamba omuti nti, "Omuntu yenna alemenga okuddayo okulya ekibala kyo!" Abayigirizwa be ne bamuwulira ng’akyogera.

Eky’okuyiga ku Mutiini Ogwakala

Awo enkeera mu makya abayigirizwa be ne balaba omuti omutiini Yesu gwe yakolimira nga gukaze okuviira ddala ku kikolo! Peetero n’ajjukira n’agamba Yesu nti, "Omuyigiriza, laba omutiini gwe wakolimira gukaze!"

Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mukkiririze mu Katonda. Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, Siguka ogwe mu nnyanja,n’atabuusabuusa mu mutima gwe, naye n’aba n’okukkiriza, ky’ayogedde kirituukirira. Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli. Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe.

Abayigirizwa Abaasooka

Awo Yesu yali ayimiridde ku lubalama lw’ennyanja y’e Genesaleeti ng’ayigiriza, ebibiina nga bamunyigiriza nga bawuliriza ekigambo kya Katonda, n’alengera amaato abiri ameereere nga gali kumpi n’olukalu, nga bannannyinigo abavubi, bagalese awo, nga bayoza obutimba bwabwe. Yesu n’alinnya mu lyato erimu eryali erya Simooni, n’amusaba alisembezeeko katono mu nnyanja, n’alituulamu, asinziire omwo okuyigiriza ebibiina.

Bwe yamala okuyigiriza n’agamba Simooni nti, "Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!"

Simooni n’addamu nti, "Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bw’otugambye, nzija kusuula obutimba."

Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika n’okukutuka. Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula n’okusaanawo.

Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti, "Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo." Kubanga obungi bw’ebyennyanja bye baakwasa bwa muwuniikirizza nnyo awamu ne banne bwe baavubanga, Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo.

Yesu n’amuddamu nti, "Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu." Amaato gaabwe olwagoba ku lubalama ne baleka awo byonna ne bagenda naye.

Yesu Akkakkanya Omuyaga

Lwali lumu Yesu n’alinnya mu lyato n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, "Tuwunguke tulage emitala w’ennyanja." Ne basimbula okugenda. Bwe baali baseeyeeya Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’eryato ne liyuuga nnyo, ne baba mu kabi kanene.

Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, "Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!" N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’amazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja n’etteeka! N’alyoka abagamba nti, "Okukkiriza kwammwe kuluwa?"

Ne batya, ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti, "Omuntu ono ye ani? Alagira omuyaga n’amazzi ne bimugondera!"

Yesu Akkakkanya Omuyaga

Lwali lumu Yesu n’alinnya mu lyato n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, "Tuwunguke tulage emitala w’ennyanja." Ne basimbula okugenda. Bwe baali baseeyeeya Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’eryato ne liyuuga nnyo, ne baba mu kabi kanene.

Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, "Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!" N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’amazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja n’etteeka! N’alyoka abagamba nti, "Okukkiriza kwammwe kuluwa?"

Ne batya, ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti, "Omuntu ono ye ani? Alagira omuyaga n’amazzi ne bimugondera!"

Yesu Awonya Omusajja Eyaliko Baddayimooni

Awo ne bagoba emitala w’eri mu nsi y’Abageresene eyolekedde Ggaliraaya.

Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ekkumi n’ababiri ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, "Abantu bagambe bagende mu bibuga ebyetoolodde wano ne mu byalo beefunire we banaafuna ku mmere n’okusula, kubanga wano tuli mu ttale jjereere."

Yesu n’abaddamu nti, "Mmwe mubawe ekyokulya!"

Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, "Wano tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri, mpozi nga tugenda tugulire abantu bano bonna emmere." Waaliwo abasajja ng’enkumi ttaano. Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mutuuze abantu mu bibiina by’abantu ng’amakumi ataano buli kimu." Abayigirizwa ne bakola bwe batyo, bonna ne batuula. Awo Yesu n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’atunula eri eggulu, ne yeebaza, n’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja, n’awa abayigirizwa be bagabule abantu. Bonna ne balya ne bakkuta, era obutundutundu obwalema bwe bwakuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri.

Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo. Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa. Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, "Tebakyalina wayini."

Yesu n’amuddamu nti, "Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka."

Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, "Kyonna ky’abagamba kye muba mukola."

Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.

Yesu n’agamba abaweereza nti, "Amasuwa mugajjuze amazzi." Ne bagajjuza okutuuka ku migo. Awo n’abagamba nti, "Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi."

Ne basena ne bamutwalira. Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja n’amugamba nti, "Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!"

Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.

Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.

Firipo n’amuddamu nti, "Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono."

Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, "Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?"

Yesu n’abagamba nti, "Mutuuze abantu." Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano. Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.

Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa." Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.

Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. Yesu n’abagamba nti, "Ye Nze, temutya!" Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.

Yesu Alabikira Abayigirizwa be musanvu

Ebyo bwe byaggwa, Yesu n’alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey’e Tiberiya. Yabalabikira bw’ati: Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, ne batabani ba Zebbedaayo, n’abayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu. Simooni Peetero n’abagamba nti, "ŋŋenda kuvuba." Ne bamugamba nti, "Ka tugende ffenna." Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu.

Bwe bwali bukya, Yesu n’ayimirira ku lubalama, naye abayigirizwa ne batamutegeera.

Yesu n’ababuuza nti, "Abaana, mukwasizzaayo?"

Ne baddamu nti, "Nedda."

Yesu n’abagamba nti, "Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja ku kukwasa." Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olw’ebyennyanja ebingi bye baakwasa!

Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo n’agamba Peetero nti, "Oyo Mukama waffe!" Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi. Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala n’olukalu, baali nga mita kyenda. Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogw’amanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja n’omugaati.

Yesu n’abagamba nti, "Muleete ku byennyanja bye muva okukwasa kaakano."

Awo Simooni Peetero n’agenda n’awalula akatimba n’akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka.

Libertações

Jesus expulsou demônios com autoridade. Os espíritos impuros não resistiam à sua palavra e saíam imediatamente.

Okukkiriza kw’Omuserikale Omuruumi

Awo Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omuserikale Omuruumi, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, n’ajja n’amwegayirira, ng’agamba nti, "Mukama omulenzi wange mulwadde nnyo, amaze ebbanga ddene ng’akoozimbye ali ku kitanda era abonaabona nnyo."

Yesu n’amuddamu nti, "Nnajja ne mmuwonya."

Omukulu w’ekitongole n’agamba Yesu nti, "Mukama, sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange, yogera bwogezi ekigambo, omulenzi wange anaawona! Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, Genda,agenda, n’omulala nti, Jjangu,era ajja, n’omuddu wange nti, Kola kino,akikola."

Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, n’agamba abaali bamugoberera nti, "Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri! Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obw’omu ggulu. Naye abaana b’obwakabaka, baligoberwa ebweru mu kizikiza ekikutte, eriba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji."

Awo Yesu n’agamba omukulu w’ekitongole Omuruumi nti, "Ggenda. Nga bw’okkirizza kikukolerwe." Omulenzi we n’awonerawo mu kiseera ekyo.

Awo bwe yatuuka emitala w’eri mu nsi y’Abagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gy’ali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. Ne bawowoggana nnyo nti, "Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ng’ekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?"

Walako ne we baali waaliwo eggana ly’embizzi nga zirya, baddayimooni ne basaba Yesu nti, "Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana ly’embizzi."

Yesu n’agamba baddayimooni nti, "Kale, mugende." Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo. Naye abaali balunda embizzi ne badduka ne bagenda mu kibuga ne babuulira abantu byonna ebibaddewo, n’ebyabasajja abaaliko baddayimooni. Abantu b’omu kibuga bonna ne bafuluma okujja okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba ne bamwegayirira abaviire mu kitundu kyabwe.

Awo Yesu ne be yali nabo, bwe baali bafuluma ne bamuleetera kiggala eyali tayogera kubanga yaliko dayimooni. Yesu n’amugobako dayimooni, era amangwago abadde kiggala n’ayogera. Ekibiina ky’abantu ne beewuunya nnyo nga bagamba nti, "Kino tekibangawo mu Isirayiri."

Yesu ne Beeruzebuli

Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba.

Okukkiriza kw’Omukanani

Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni. Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, "Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo."

Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, "Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira."

Naye Yesu n’addamu omukazi nti, "Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula."

Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, "Mukama wange, nnyamba."

Yesu n’amuddamu nti, "Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa."

Omukazi n’addamu nti, "Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo."

Awo Yesu n’amugamba nti, "Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala." Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.

Omusimbu Awonyezebwa

Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja n’ajja gy’ali n’afukamira we yali, n’amugamba nti, "Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi. Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya."

Yesu n’addamu nti, "Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano." Yesu n’aboggolera dayimooni, n’ava ku mulenzi, omulenzi n’awona mu kiseera ekyo.

Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, n’awowoggana, ng’agamba nti, "Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda." Awo Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti, "Sirika era muveeko." Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako.

Yesu Awonya Omusajja Eyaliko Baddayimooni

Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka emitala w’ennyanja mu nsi y’Abageresene. Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi n’ajja gy’ali ng’ava mu malaalo. Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba. Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu n’okusiba amagulu ge n’enjegere naye byonna ng’abikutulakutula. Ne wataba na muntu w’amaanyi ayinza kumusiba kumunyweza. Naye bulijjo yatambulanga emisana n’ekiro mu malaalo ne mu nsozi. Yawowoggananga nga bw’akaaba era nga bwe yeesalaasala n’amayinja.

Awo bwe yalengera Yesu ng’akyali walako ku nnyanja n’adduka n’agenda eryato we lyagoba, n’asinza Yesu. N’aleekaana nnyo nti, "Onjagaza ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda, Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayirira, olw’ekisa kya Katonda, tombonyaabonya." Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja.

Awo Yesu n’amubuuza nti, "Erinnya lyo ggw’ani?" N’addamu nti, "Erinnya lyange nze Ligyoni, kubanga tuli bangi." N’amwegayirira nnyo aleme okumugoba mu kitundu ekyo.

Awo waaliwo eggana ly’embizzi nnyingi nnyo ku lusozi nga zirya. Omwoyo omubi ne gwegayirira Yesu nti, "Tusindike mu mbizzi ziri." Yesu n’abakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana ly’embizzi. Awo eggana ly’embizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.

Awo abaali bazirunda ne badduka mangu ne bagenda bategeeze ab’omu kibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddewo.

Naye mmwe mugamba nti kituufu omuntu okulagajjalira bakadde be nga bali mu kwetaaga n’abagamba bugambi nti, Mmunsonyiwe, kubanga kye nandibawadde ye Korubaani.’ " "Omuntu temumukkiriza kubeerako ky’akolera kitaawe oba nnyina. Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. N’ebirala bingi ebiri ng’ebyo bye mukola."

Ebyonoona Omuntu

Awo Yesu n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, "Mmwe mwenna, mumpulirize, era mutegeere. Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona.

Okukkiriza kw’Omukazi Omusulofoyiniiki

Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka. Omukazi eyalina muwala we ng’aliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, n’ajja eri Yesu, n’agwa ku bigere bye. Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, n’amwegayirira agobe dayimooni ku mwana we.

Yesu n’agamba omukazi nti, "Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa."

Naye omukazi n’amuddamu nti, "Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era n’embwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani z’abaana."

Yesu n’amugamba nti, "Olw’ekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo."

Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.

Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, "Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi. Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa."

Yesu n’agamba nti, "Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano."

Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.

Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, "Kino kimaze bbanga ki?" Kitaawe n’addamu nti, "Okuviira ddala mu buto. Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire."

Yesu n’amuddamu nti, "Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza."

Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, "Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!"

Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, "Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga."

Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako n’aba ng’afudde, bangi ne balowooza nti afudde. Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’amuyimiriza.

Yesu Awonya Abalwadde Bangi

Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, n’alaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe. Yesu n’ayimirira okumpi n’omulwadde we yali, n’alagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde n’awona, n’asituka n’abaweereza!

Awo Yesu bwe yava mu lyato omusajja eyaliko baddayimooni n’ajja okumusisinkana ng’ava mu kibuga. Omusajja oyo yali amaze ebbanga ddene nga tayambala ngoye, nga tasula na mu nju, wabula ng’asula mu ntaana. Awo bwe yalaba Yesu n’awowoggana n’agwa wansi mu maaso ga Yesu, n’aleekaana nti, "Onjagaza ki, Yesu, Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayiridde tombonyaabonya!"

Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku musajja oyo. Emirundi mingi yalumbibwanga n’amaanyi mangi, ne bwe baamusibanga n’enjegere, n’akuumibwa mu masamba, yabikutulanga, ddayimooni n’amulaza mu ddungu.

Awo Yesu n’abuuza omusajja nti, "Erinnya lyo ggwe ani?"

Omusajja n’addamu nti, "Nze Ligyoni," kubanga omusajja yaliko baddayimooni bangi. Baddayimooni ne beegayirira Yesu aleme okubagobera mu bunnya obutakoma.

Waaliwo eggana ly’embizzi, awo ku lusozi, nga lirya, baddayimooni ne beegayirira Yesu abasindike mu mbizzi ezo. Yesu n’abakkiriza. Baddayimooni ne bava ku musajja ne bayingira mu mbizzi, amangwago eggana lyonna ne lifubutuka nga liserengeta olusozi, ne lyewanula ku bbangabanga, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo. Abalunzi b’embizzi ezo bwe baakiraba, ne badduka embiro ne bagenda, ne bategeeza ab’omu malundiro ne mu kibuga, ebintu byonna ebibaddewo. Ekibiina ky’abantu ne bagenda okulaba ebibaddewo ne bajja eri Yesu, ne balaba omusajja eyagobwako baddayimooni ng’atudde awo awali ebigere bya Yesu ng’ayambadde engoye era nga mulamu ddala! Ne batya nnyo.

"Naye ddala ddala mbagamba nti abamu ku abo abayimiridde wano waliwo abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda."

Okufuusibwa

Awo nga wayiseewo ng’ennaku munaana, Yesu n’atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba. Bwe yali ng’asaba endabika y’amaaso ge n’ekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana. Awo abantu babiri ne balabika nga banyumya ne Yesu, omu yali Musa n’omulala Eriya, abaali bamasamasa mu kitiibwa kyabwe nga boogera ku kufa kwa Yesu, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemi.

Peetero ne banne otulo twali tubakutte era nga beebase, Bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kya Yesu n’abantu ababiri abaali bayimiridde naye. Awo Musa ne Eriya bwe baali bagenda, Peetero nga tamanyi ne kyayogera, n’agamba nti, "Mukama wange kirungi ffe okubeera wano. Ka tuzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa n’endala ya Eriya!"

Omusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, "Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina. Kubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi. Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola."

Awo Yesu n’addamu nti, "Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo."

Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe. Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti,

Yesu ne Beeruzebuli

Lwali lumu Yesu n’agoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo n’ayogera, ekibiina ky’abantu ne beewuunya.

Era omu ku bo n’atemako n’ekitala okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu. Naye Yesu n’abagamba nti, "Temwongera kubalwanyisa." N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!

Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu n’abuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. N’ababuuza nti, "Bwe mwagenda mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? Naye mwagenderera kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambadde engoye ezinekaaneka, nga babeera mu bulamu bwa kikungu era babeera mu mbiri. Naye mwagenderera kulaba ki? Nnabbi? Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. Y’oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti,

" Laba, ntuma omubaka wange okukukulembera,

y’alikuteekerateekera ekkubo lyo mu maaso go.’ "

"Mbagamba nti, mu bantu bonna abaali bazaaliddwa abakazi, tewali mukulu wa kitiibwa kukira Yokaana, naye ate oyo asembayo mu bwakabaka bwa Katonda asinga Yokaana ekitiibwa."

Abantu bonna, awamu n’abasolooza b’omusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana. Naye Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.

Seja o primeiro