Milagres
Os milagres manifestam o poder soberano de Deus. Desde a criação até os sinais de Jesus e dos apóstolos, Deus intervém sobrenaturalmente na história para revelar sua glória e amor.
O Deus dos milagres
Para Deus nada é impossível. Ele abriu o mar, fez cair fogo do céu e ressuscitou mortos. Seu poder não tem limites.
Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, "Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna."
Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, "Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna."
Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda."
"Nze Mukama, Katonda w’abantu bonna. Eriyo ekinnema?
Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n’asindika ku nnyanja embuyaga ez’amaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ng’amazzi gayawuddwamu. Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ng’amazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n’olwa kkono.
Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
Ggwe Katonda akola eby’amagero;
era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
Milagres pela fé
Se tiverdes fé como um grão de mostarda, movereis montanhas. A fé é a chave que acessa o poder miraculoso de Deus.
Yesu n’abaddamu nti, "Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa.
Yesu n’abaddamu nti, "Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo.
Yesu n’amuddamu nti, "Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza."
Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abaddamu nti, "Eri abantu tekiyinzika. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka."
Yesu n’addamu nti, "Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda."
Era yakolerayo ebyamagero bitono olw’obutakkiriza bwabwe.
Sinais e prodígios
Os apóstolos realizaram sinais e maravilhas em nome de Jesus. Os dons do Espírito incluem a operação de milagres e a fé sobrenatural.
"Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi.
Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.
Katonda n’akozesanga Pawulo eby’amagero eby’ekitalo. Obutambaala bwe n’ebiwero eby’engoye ze bwe byabikkibwanga ku balwadde nga bawona, era abaabangako baddayimooni nga babavaako.
Eky’amazima obubonero obw’omutume bwakolerwa mu mmwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero ne mu byewuunyo, ne mu bikolwa eby’amaanyi.
Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi.
Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera. Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula.
Naye Yesu n’amuddamu nti, "Temumuziyizanga, kubanga tewali muntu n’omu akola ebikolwa eby’amaanyi mu linnya lyange ate amangwago n’anjogerako bibi. Kubanga buli atatuvuganya aba akolera wamu naffe.
Milagres de cura e provisão
A oração da fé salvará o enfermo. Deus provê, cura e intervém quando clamamos a Ele com fé genuína.
Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.
Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu! Ate n’asaba enkuba n’etonnya, omuddo n’ebisimbe byonna ne biddamu okumera.
Awo Yesu n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’atunula eri eggulu, ne yeebaza, n’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja, n’awa abayigirizwa be bagabule abantu. Bonna ne balya ne bakkuta, era obutundutundu obwalema bwe bwakuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri.
Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro, ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola. Yesu n’amulaba, n’amuyita n’amugamba nti, "Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo." N’amukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola n’ayimirira bulungi, n’atendereza Katonda!
Naye omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro eryo n’anyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. N’agamba ekibiina nti, "Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!"
Mukama waffe n’amuddamu nti, "Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti n’agitwala okunywa amazzi? Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bw’amazeemu emyaka ekkumi n’omunaana?"
Bwe yayogera bw’atyo abaali bamuwakanya bonna ne baswala, naye ekibiina ky’abantu bonna ne bajjula essanyu olw’ebintu eby’ekitalo bye yakola.
Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.
Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, "Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!"
Yesu n’amugamba nti, "Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye."
Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino. Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.
N’omuyigirizwa oli omulala, eyasooka okutuuka ku ntaana n’ayingira. N’alaba era n’akkiriza. Kubanga okutuusiza ddala mu kiseera ekyo baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Kimugwanira okuzuukira mu bafu.
Discernimento nos sinais
A Bíblia alerta contra falsos milagres e sinais enganosos. Devemos provar os espíritos e não seguir sinais que desviam de Deus.
Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu n’akutegeeza eby’omu maaso nga yeeyambisa ebirooto, n’alangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo, era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo by’anaabanga alangiridde ne bituukirira, n’alyoka akugamba nti, "Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga" (bakatonda ggwe b’otomanyangako), towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi w’ebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala n’omutima gwammwe gwonna n’emmeeme yammwe yonna. Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.
Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba. Abo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.
Awo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, "Omuyigiriza twagala otulage akabonero."
Naye n’abaddamu nti, "Omulembe omwonoonefu era omwenzi ogunoonya akabonero; temugenda kuweebwa kabonero okuggyako aka nnabbi Yona. Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana n’ekiro, n’Omwana w’Omuntu bw’atyo bw’alimala mu ttaka ennaku ssatu emisana n’ekiro.
Yesu n’anenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya. "Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe. Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango! Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye oliserengesebwa wansi emagombe. Kubanga ebyamagero eby’ekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olw’okusalirako omusango!"
A criação como milagre
O próprio corpo humano é milagre de Deus. Toda a criação testifica do poder e da sabedoria do Criador.
Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.
Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, "Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri." Amakulu gaalyo nti, "Katonda ali naffe."
Naye bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu, kubanga bonna baamulaba ne batya.
Naye n’ayanguwa okwogera nabo, n’abagamba nti, "Mugume omwoyo. Ye Nze, temutya."
Naye Yesu bwe yakiwulira n’amugamba nti, "Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu."
Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky’abayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi ery’omwanguka olw’ebyamagero bye yali akoze nga boogera nti,
"Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!"
"Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!"
Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.
Ne ngwa wansi ku ttaka, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’
Awo Mukama n’agamba Musa nti, "Genda eri Falaawo, kubanga nnyongedde okukakanyaza omutima gwe, n’omutima gw’abaweereza be, ndyoke mbalage ebyamagero byange bino: era naawe onyumize abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebintu bye nkoledde mu Misiri, n’ebyamagero bye mbalaze; nammwe mulyoke mutegeere nga nze Mukama."