Publicidade

A mulher virtuosa

Por Bíblia Online

A mulher virtuosa de Provérbios 31 é um retrato de excelência. Seu valor excede o de rubis — ela é sábia, trabalhadora, generosa e teme ao Senhor acima de tudo.

Uma joia rara

Mulher virtuosa, quem a achará? Seu valor excede o de rubis. Ela é o coração da família e a força do lar.

Omukazi ow’Amagezi

Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?

Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.

Omukazi ow’Amagezi

Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?

Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.

Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,

era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.

Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,

obulamu bwe bwonna.

Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,

n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.

Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,

aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.

Agolokoka tebunnakya,

n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya,

n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.

Alowooza ku nnimiro n’agigula;

asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.

Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,

emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.

Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,

era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.

Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,

engalo ze ne zikwata akati akalanga.

Ayanjululiza abaavu omukono gwe,

n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.

Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,

naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.

Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna ky’onoosaba. Abantu bange bonna ab’omu kibuga, bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza.

Caráter acima da aparência

Enganosa é a graça e vã é a formosura, mas a mulher que teme ao Senhor será louvada. A verdadeira beleza é interior.

Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,

naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.

Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo. Wabula babe n’ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.

Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,

naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.

Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,

naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

Abakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi, balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga ba bbaabwe awamu n’abaana baabwe. Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri ba bbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-28_14-13-17-