Sabedoria
A sabedoria é um dos temas mais ricos da Bíblia. O temor do Senhor é seu princípio, e buscá-la vale mais que ouro ou prata. Deus promete dar sabedoria generosamente a quem pedir com fé.
O princípio da sabedoria
O temor do Senhor é o início de toda sabedoria verdadeira. Quem reverencia a Deus aprende a viver com discernimento e prudência.
Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
"Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,
n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.
Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
"Naye amagezi gasangibwa wa?
Okutegeera kuva wa?
Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.
"Kale amagezi gava ludda wa?
N’okutegeera kubeera ludda wa?
Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
Sabedoria como dom de Deus
A verdadeira sabedoria vem do alto. Deus a concede generosamente a quem pede com fé, sem lançar em rosto a fraqueza humana.
Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.
Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.
Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.
Kubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
Kubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
awo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange
ompadde amagezi n’amaanyi,
ombikkulidde ekyo kye twakusabye,
otutegeezezza ekirooto kya kabaka."
N’ayogera nti,
"Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe n’emirembe,
kubanga amagezi n’obuyinza bibye.
Abavubuka abo abana, Katonda n’abawa amagezi n’okutegeera eby’okuyiga eby’engeri zonna; Danyeri n’asukkirira mu kutegeera okw’okuvvuunula okwolesebwa okw’engeri zonna, n’ebirooto.
A sabedoria do alto
A sabedoria que vem de Deus é pura, pacífica, amável, cheia de misericórdia e de bons frutos. Ela se opõe à sabedoria terrena e mundana.
Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.
Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.
Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.
Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi.
Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe;
naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda. Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi.
Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi.
Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya.
Direção e discernimento
Deus guia os humildes na justiça e ensina seu caminho aos mansos. Ele promete dirigir nossos passos quando confiamos nele de todo o coração.
Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna,
so teweesigamanga ku magezi go gokka.
Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,
naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.
Amagezi go tegakusigulanga,
naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.
Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
n’abayigiriza ekkubo lye.
Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
aluŋŋamya entambula ye.
Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
era onkulembere mu kkubo lyo,
kubanga abalabe bange banneetoolodde.
A Palavra como fonte de sabedoria
A Palavra de Deus é lâmpada para os pés e luz para o caminho. Meditar nas Escrituras nos dá entendimento superior ao dos mestres.
Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.
Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.
Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
Alina omukisa omuntu
atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.
Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
Sabedoria prática para o dia a dia
A sabedoria se aplica em cada decisão: nas finanças, nos relacionamentos, no trabalho e no uso do tempo. Vivamos como sábios, não como insensatos.
Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi.
Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi.
Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa,
oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.
Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa,
oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi.
Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye,
n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.
Kola entegeka nga weebuuza ku magezi,
bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.
Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,
n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.
Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi,
naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.
Amalala gazaala buzaazi nnyombo,
naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.
Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe,
naye oyo amala googera, alizikirira.
Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye,
naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.
Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse,
naye obwetoowaze buleeta amagezi.
Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro,
naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.
Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya,
amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.
Omusirusiru tasanyukira kutegeera,
ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.
Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi,
era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.
N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga
n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.
Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.
Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo;
O valor da sabedoria
A sabedoria é mais preciosa que rubis. Quem a encontra, encontra a vida e alcança o favor do Senhor. Nada se compara a ela.
Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi,
omuntu oyo afuna okutegeera,
Kubanga buli andaba afuna obulamu,
era afuna okuganja eri Mukama.
Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu,
era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!
Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye,
naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.
Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe,
Naye okuddamu kuva eri Mukama.
Amagezi kiwummulo,
ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,
naye enkizo y’okumanya y’eno:
amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.
Teweebuuzanga nti, "Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?"
Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.
Kubanga omuntu asanyusa Katonda, Katonda amuwa amagezi n’okumanya n’essanyu; naye omwonoonyi Katonda amuwa omulimu gw’okukuŋŋaanyiza oyo asanyusa Katonda. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.
Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.
A sabedoria e a soberania de Deus
Os caminhos de Deus são mais altos que os nossos. Sua sabedoria é insondável, eterna e infinitamente superior ao entendimento humano.
"Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi,
bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe,
n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.
"Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe
era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,"
bw’ayogera Mukama.
Tonnamanya?
Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
Tonnamanya?
Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi
oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye.
Anzukusa buli nkya,
buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.
Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,
abeesiga embalaasi,
abeesiga amagaali gaabwe amangi,
abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi
ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri
wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;
tajjulula bigambo bye.
Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu,
ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.
Bino byonna nabyo biva eri Mukama Katonda ow’Eggye,
ow’ekitalo mu kuteesa ebigambo,
asinga amagezi.
Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.
Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,
n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga,
amagumba go aligongeramu amaanyi;
era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi,
era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
Kale nga Katonda wa kitalo,
ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;
ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
Katonda omu yekka ow’amagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe n’emirembe. Amiina.
Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi.
Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
ensi ejjudde ebitonde byo.
Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
Mu kuteesa kwo onkulembera,
era olintuusa mu kitiibwa.
Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
Sanyukiranga mu Mukama,
anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
olw’abalabe bange,
ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
Olindaga ekkubo ery’obulamu;
w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,
era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.
Balikomawo nga bakaaba,
balisaba nga mbakomyawo.
Ndibakulembera ku mabbali g’emigga,
mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira
kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri,
era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.
Mmanyi Ayi Mukama Katonda ng’obulamu bw’omuntu si bubwe,
omuntu si y’aluŋŋamya amakubo ge.
Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,
n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,
era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
Teweenyumirizanga mu bya nkya,
kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.
Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya,
naye abo abanoonya Mukama babutegeerera ddala bulungi.
Kaakano nsaba nti oyo akola ebintu byonna okusinga byonna bye tusaba, ne bye tulowooza, ng’amaanyi ge bwe gali agakolera mu ffe, agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe n’emirembe. Amiina.
Omulundi guno gwe nzija gye muli gwe gwokusatu. Buli kigambo kirikakasibwa abajulirwa babiri oba basatu nga boogedde.
Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,
"Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,
so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.
Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,
Era abonereza buli gw’ayita omwana we."
Eky’enkomerero, abooluganda, mulowoozenga ku buli kya mazima, na buli ekisiimibwa na buli kya butuukirivu, na buli kirongoofu, na buli kyagalibwa, na buli kyogerwako obulungi, era bwe wabangawo ekirungi oba bwe wabangawo ettendo, ebyo mubirowoozengako.
Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala."
Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani. Naye laba asinga Sulemaani ali wano.
"Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi.
Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo n’amagezi ebiriremesa n’abalabe bammwe okubaako n’eky’okuddamu!
Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga."
Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi;
n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye?
Okuwangaala tekuleeta kutegeera?
Katonda y’alina amagezi n’amaanyi;
y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera.
Yobu n’alyoka addamu nti,
"Ddala nkimanyi nga kino kituufu.
Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye,
tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo;
ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
N’abategeeza nti, "Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango.
Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula.