Mulher
A Bíblia celebra a mulher como obra-prima da criação divina. Ela é elogiada por sua sabedoria, força, beleza interior e papel fundamental na família e na sociedade.
A mulher na criação
Deus criou o homem e a mulher à sua imagem. A mulher foi formada como ajudadora idônea — parceira de igual dignidade e valor.
Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,
mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;
n’abatonda omusajja n’omukazi.
Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.
Omusajja n’agamba nti,
"Lino lye ggumba ery’omu magumba gange,
ye nnyama ey’omu nnyama yange,
anaayitibwanga mukazi;
kubanga aggyibbwa mu musajja."
Virtude e caráter
A beleza é vã e a formosura passageira, mas a mulher que teme ao Senhor é digna de louvor. Seu caráter é seu maior tesouro.
Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,
naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,
naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.
Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,
naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.
Omukazi ow’ekisa aweebwa ekitiibwa,
naye abasajja ab’amawaggali bakoma ku bugagga bwokka.
Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,
naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
Okubeera mu ddungu,
kisinga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.
Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna ky’onoosaba. Abantu bange bonna ab’omu kibuga, bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza.
Sabedoria e serviço
As mulheres da Bíblia foram líderes, profetisas e discípulas fiéis. Jesus honrou as mulheres e as incluiu em seu ministério.
Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’agenda ng’akyalira ebibuga ebinene n’ebitono ng’abuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda, n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri nga bali naye. Waaliwo n’abakazi Yesu be yali agobyeko emyoyo emibi ne be yali awonyezza endwadde. Mu bo mwe mwali ne Maliyamu eyayitibwanga Magudaleene gwe yagobako baddayimooni omusanvu, ne Jowaana muka Kuza eyali omukulu w’olubiri lwa Kerode; ne Susaana, n’abalala bangi, abaatoolanga ku byabwe ne balabirira Yesu n’abayigirizwa be.
Abakazi abafumbo, mu ngeri y’emu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw’empisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye.
Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga n’obwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga.
N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu.
Abakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi, balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga ba bbaabwe awamu n’abaana baabwe. Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri ba bbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.