Não temas
'Não temas' é uma das frases mais repetidas na Bíblia. Deus a pronuncia nos momentos de maior temor, lembrando que sua presença e poder são maiores que qualquer ameaça.
Deus está contigo
Não temas, porque eu sou contigo. Deus repete essa promessa em cada crise, guerra e desafio que seus filhos enfrentam.
Totya kubanga nze ndi wamu naawe;
tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.
Nnaakuwanga amaanyi.
Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange."
Kubanga nze Mukama Katonda wo
akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
Totya nze nzija kukuyamba.
Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba," bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
Omutukuvu wa Isirayiri.
Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,
werinnyire ku lusozi oluwanvu;
ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,
yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya.
Gamba ebibuga bya Yuda nti, "Laba Katonda wammwe ajja!"
Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga."
Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga."
Ebyo nga biwedde, ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa nti,
"Totya Ibulaamu,
Nze ngabo yo
era empeera yo ennene ennyo."
Coragem diante do perigo
Não tenhas medo — o Senhor teu Deus está no meio de ti, poderoso para salvar. Ele luta por nós e dá forças aos medrosos.
Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
"Totya, ggwe Sayuuni;
emikono gyo gireme okuddirira.
Mukama Katonda ali naawe,
ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
alikusanyukira n’okuyimba."
Nnabbi n’addamu nti, "Totya kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo."
Awo Erisa n’asaba ng’agamba nti, "Ayi Mukama, zibula amaaso ge asobole okulaba." Amangwago Mukama n’azibula amaaso ag’omuweereza, laba ng’ensozi zijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro nga geetoolodde Erisa.
Mwe abali mu nsi, temutya.
Musanyuke era mujaguze;
kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, "Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga. Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya," bw’ayogera Mukama Katonda.
Awo ekiro kimu Mukama n’ayogera ne Pawulo mu kwolesebwa, n’amugamba nti, "Totya! Weeyongere okubuulira, so tosirika! Kubanga ndi wamu naawe, tewali ayinza kukulumba n’akukola kabi. Era mu kibuga muno mulimu abantu bange bangi."
Kaakano ggwe omwana w’omuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newaakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga bikwetoolodde, era ng’obeera wakati mu njaba ez’obusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu. Oteekwa okubategeeza ebigambo byange, oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga bajeemu.
Fé que vence o medo
O medo não vem de Deus. Jesus disse: não temas, crê somente! A fé dissipa o medo e nos conecta ao poder de Deus.
Yesu n’awulira ebigambo ebyayogerwa wabula n’agamba omukulu w’ekkuŋŋaaniro nti, "Totya, ggwe kkiriza bukkiriza."
Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.
Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena.
Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, "Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
Awo malayika n’amugamba nti, "Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda.
Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti, "Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo."