Pular para o conteúdo
Publicidade

Nascimento: o que a Bíblia diz sobre a vida e a fé

O que a Bíblia ensina sobre o nascimento

Na Bíblia, o nascimento não é fruto do acaso: é um ato criador de Deus, que planeja e sustenta cada vida desde o ventre materno. As Escrituras tratam a chegada de uma criança como dádiva divina e apontam para dois outros nascimentos centrais na fé: a encarnação histórica de Jesus e o novo nascimento espiritual de quem crê.

Formados por Deus no ventre materno

A gestação é descrita no Antigo Testamento como uma obra cuidadosa das mãos do Criador. Os textos bíblicos mostram que Deus não espera o parto para conhecer o ser humano — Ele se relaciona com a pessoa e estabelece o seu propósito antes mesmo do nascimento.

Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;

ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.

Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;

emirimu gyo gya kyewuunyo;

era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.

Wammanya nga ntondebwa,

bwe nakolerwa mu kyama;

bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.

Wandaba nga si natondebwa.

Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera

zawandiikibwa mu kitabo kyo.(Zabbuli 139:13-16)

"Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;

nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.

Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga."(Yeremiya 1:5)

Naye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,

era wampa okukwesiga

ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.(Zabbuli 22:9)

Olwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;

olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.(Zabbuli 22:10)

Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;

ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.

Nnaakutenderezanga ennaku zonna.(Zabbuli 71:6)

"Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,

n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?

Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira

naye nze sirikwerabira.(Isaaya 49:15)

Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa

ne batazaalibwa?" bw’ayogera Mukama Katonda.

"Ate olubuto ndusiba ntya

nga ndutuusizza ku kuzaala?" bw’ayogera Mukama Katonda wo.(Isaaya 66:9)

O nascimento de Jesus e o cumprimento da promessa

O nascimento de Jesus em Belém marca a entrada do próprio Deus na história humana. Os Evangelhos destacam a concepção virginal operada pelo Espírito Santo como o cumprimento direto das profecias messiânicas anunciadas séculos antes pelos profetas.

Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.(Isaaya 7:14)

Awo mu mwezi ogw’omukaaga, Katonda n’atuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, ow’omu lulyo lwa Dawudi.(Lukka 1:26,27)

Awo malayika n’amugamba nti, "Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda. Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu. Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma."(Lukka 1:30-33)

Awo Maliyamu n’abuuza malayika nti, "Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja."

Malayika n’amuddamu nti, "Mwoyo Mutukuvu alikukkako, n’amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, n’omwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda.(Lukka 1:34,35)

Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu. Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi.

Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, "Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe."(Matayo 1:18-21)

Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, "Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri." Amakulu gaalyo nti, "Katonda ali naffe."

Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we. Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.(Matayo 1:22-25)

Filhos e crianças como dádiva divina

A Bíblia celebra o nascimento de uma criança como herança do Senhor e consolo para os pais. Jesus reafirmou o valor dos pequenos ao colocá-los como exemplo de fé e dependência para quem deseja entrar no Reino de Deus.

Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;

era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.(Zabbuli 127:3)

Namusaba omwana ono, era Mukama Katonda ampadde kye namusaba.(1 Samwiri 1:27)

Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi.(Yokaana 16:21)

Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.

"Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze.(Matayo 18:4,5)

Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu."(Matayo 19:14)

Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa.(Makko 10:16)

O novo nascimento espiritual

Além do nascimento biológico, o Novo Testamento fala de um segundo nascimento. Em conversa com o fariseu Nicodemos, Jesus ensinou que, assim como ninguém controla o próprio parto natural, a vida com Deus exige uma regeneração operada pelo Espírito Santo.

Yesu n’amuddamu nti, "Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda."(Yokaana 3:3)

Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.(1 Yokaana 3:9)

Para aprofundar no cuidado pessoal do Criador sobre a formação de cada indivíduo, leia o Salmo 139 completo.

Seja o primeiro

Este artigo te tocou? Faça uma oração!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.