Publicidade

Pais

Por Bíblia Online

Deus é nosso Pai celestial — amoroso, provedor, disciplinador e fiel. As Escrituras também honram os pais terrenos e os chamam a criar os filhos na instrução do Senhor.

O Pai celestial

Deus é Pai de misericórdias. Ele nos adotou como filhos, nos ama incondicionalmente e cuida de cada detalhe da nossa vida.

Abaana ba Katonda

Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.

Abaana ba Katonda

Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.

Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, "Aba, Kitaffe." Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda.

Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye.

nga tugamba nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe;

Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,

ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.

Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,

ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.

Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa

era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.

Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;

ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.

Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe.

Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi,

ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.

Ggwe Kitaffe,

wadde nga Ibulayimu tatumanyi

era nga Isirayiri tatutegeera,

Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe

okuva edda n’edda lye linnya lyo.

Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,

omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,

n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.

N’erinnya lye aliyitibwa nti,

Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,

Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.

Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,

omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,

n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.

N’erinnya lye aliyitibwa nti,

Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,

Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.

O cuidado paterno de Deus

O Pai celestial sabe do que precisamos antes de pedirmos. Ele dá boas dádivas aos filhos que pedem e cuida até dos passarinhos.

Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo?

Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.

Naye ggwe bw’obanga osaba, oyingiranga mu nnyumba yo, ne weggalira mu kisenge kyo n’osabira eyo mu kyama. Kitaawo ategeera ebyama byo byonna alikuwa by’omusabye.

Naye ggwe bw’osiibanga olongoosanga enviiri zo n’onaaba ne mu maaso, abantu baleme kutegeera nti osiiba, okuggyako Kitaawo ali mu ggulu era alaba mu kyama alikuwa empeera."

"Ani ku mmwe kitaawe w’omwana, omwana we ng’amusabye ekyennyanja, mu kifo ky’ekyennyanja n’amuwa omusota? Oba ng’amusabye eggi n’amuwa enjaba? Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?"

"Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka.

Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.

Oyo ataasaasira Mwana we ye, naye n’amuwaayo ku lwaffe ffenna, talituwa buwi bintu byonna awamu naye?

Conhecer o Pai

Jesus é o caminho para o Pai. Ninguém conhece o Pai senão o Filho e aquele a quem o Filho quiser revelar.

Yesu n’addamu nti, "Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze.

Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye.

Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana.

Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga."

Yesu n’amuddamu nti, "Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye.

Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.

Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange. Nze ne Kitange tuli omu."

"Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa.

"Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka y’amanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, n’abo Omwana b’aba ayagadde okulaga Kitaawe nabo bamumanyi."

Naye mmwe kibagwanira okubeeranga abatuukirivu nga Kitammwe ali mu ggulu bw’ali Omutuukirivu."

"Temweyitanga Labbi ,kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda. Era temuyitanga muntu yenna ku nsi Kitammwe,kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo.

Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira?

Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa."

Katonda Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

Disciplina e amor paterno

O Pai disciplina os filhos que ama. A correção divina produz fruto de justiça e paz para aqueles que foram exercitados por ela.

Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.

Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu? Bakitaffe ab’omubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe.

Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,

n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,

kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,

nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.

Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,

n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,

kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,

nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.

Pais terrenos

A Bíblia honra os pais que criam os filhos nos caminhos de Deus. Honrar pai e mãe é mandamento com promessa de vida longa.

Abazadde n’Abaana Baabwe

Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. "Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa," eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi. Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

Amagezi eri Abavubuka

Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,

era tolekanga kukuutira kwa maama wo;

bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,

n’emikuufu mu bulago bwo.

Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,

n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.

Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe,

naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.

Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,

era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.

Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina,

ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.

Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;

era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.

Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,

n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.

Alina omukisa omuntu oyo

ajjuzza ensawo ye n’obusaale,

kubanga tebaliswazibwa;

balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Akyali omulamu,

y’akutendereza nga nze bwe nkola leero;

bakitaabwe b’abaana babategeeza

nga bw’oli omwesigwa ennyo.

Bakitaabwe b’abaana tebattibwenga nga babalanganga abaana baabwe, n’abaana tebattibwenga nga babalanganga bakitaabwe; buli omu anattibwanga ng’alangibwanga ekibi kye ye yennyini.

Ebitonde birindirira n’essuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa.

Era nammwe abakulu, mbawandiikidde

kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye.

Nammwe abavubuka, mbawandiikidde

kubanga muwangudde omubi.

Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde,

kubanga mutegedde Kitaffe.

Mbawandiikidde mmwe abakulu

kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye.

Mbawandiikidde mmwe abavubuka

kubanga muli ba maanyi

era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe,

era muwangudde omubi.

Temwagalanga Nsi

Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-