A paixão de Cristo
A paixão de Cristo é o ato de amor supremo da história. Jesus sofreu voluntariamente a cruz, carregando os pecados da humanidade para nos dar vida eterna.
O caminho da cruz
Jesus sabia o que o aguardava. Mesmo em agonia, submeteu-se à vontade do Pai e caminhou resolutamente para o Calvário.
Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okunnyonnyola abayigirizwa be nga bwe kimugwanidde okugenda e Yerusaalemi, abakulembeze b’Abayudaaya ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka bamubonyeebonye, era bamutte; naye ku lunaku olwokusatu azuukire.
N’abagamba nti, "Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna."
ne yeetoowaza,
n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.
Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani. Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa.
O sacrifício voluntário
Ninguém tirou a vida de Jesus — Ele a deu voluntariamente. Ele veio para servir e dar a sua vida em resgate por muitos.
Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira."
N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi."
Bakabona abakulu, n’Abasaddukaayo bonna, baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula.
Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.
Ekyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.
"Kristo teyakola kibi
wadde okwogera ebyobukuusa."
Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza. Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.
Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike.
Tetwayagala na kumutunulako,
ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo,
bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.
Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,
obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.
Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe
kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.
Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.
Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.
Ebiwundu bye, bye bituwonya.