Publicidade

Poder de decisão

Por Bíblia Online

Deus nos deu o poder de escolher. A Bíblia mostra que nossas decisões têm consequências eternas e nos chama a escolher sabiamente — a vida, a fé e o caminho de Deus.

A responsabilidade de escolher

Escolhei hoje a quem servireis. Cada decisão molda nosso destino, e Deus nos convida a escolher o caminho da vida e da obediência.

Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala w’omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda."

Yoswa n’agamba abantu nti, "Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama Katonda." Ne boogera nti, "Tuli bajulirwa."

"Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira. Mweggyeeko ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu, bye mukoze, mufune omutima omuggya n’omwoyo omuggya. Kiki ekibaleetera okufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri? Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu."

Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ng’oyokya oba ng’onnyogoga. Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange.

Decisões e consequências

Deus retribuirá a cada um segundo as suas obras. As Escrituras nos alertam que a mornidão espiritual e a resistência ao Espírito têm consequências sérias.

Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe. Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu.

"Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli.

Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene. Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.

Wasigadde akaseera katono nnyo,

oyo ow’okujja ajje era talirwa.

Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza,

kyokka bw’adda emabega simusanyukira.

Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.

Decisão e fé

Decida com fé, entregue seus planos ao Senhor e aja com determinação. Deus guia os passos de quem se achega a Ele de coração.

Akalulu kayinza okukubibwa,

naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.

Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;

byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.

Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama,

naye anaatuukirizanga entegeka zo.

Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba

kyennaava siswazibwa.

Noolwekyo kyenvudde n’egumya

era mmanyi nti siriswazibwa.

Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda.

Era balibeera bantu bange, nange mbeere Katonda waabwe. Ndibawa omutima gumu n’ekkubo limu, bantyenga emirembe gyonna, olw’obulungi bwabwe, n’obulungi bw’abaana abaliddawo.

Peetero n’abagamba nti, "Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.

Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga. Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-