Santa ceia
A Santa Ceia é uma das ordenanças mais sagradas da igreja cristã. Instituída por Jesus na última noite antes da crucificação, ela celebra seu sacrifício e proclama sua morte até que Ele volte.
A instituição por Jesus
Na noite em que foi traído, Jesus tomou o pão e o cálice, deu graças e os compartilhou com os discípulos, dizendo: 'Fazei isto em memória de mim.'
Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, "Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange."
Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, "Munywe ku kino mwenna, kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi.
Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, "Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange."
Ate n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa.
N’abagamba nti, "Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi. Ddala ddala mbagamba nti sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda."
Ate n’atoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’abagabira ng’agamba nti, "Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira."
Bwe baamala okulya ekyekiro, n’addira nate ekikompe era mu ngeri y’emu n’akibakwasa ng’agamba nti, "Ekikompe kino ke kabonero ak’endagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe.
O significado espiritual
A Ceia é participação no corpo e no sangue de Cristo. Jesus ensinou que quem come de sua carne e bebe de seu sangue tem a vida eterna.
Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange."
Yesu n’abagamba nti, "Ddala ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa n’omusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe. Buli alya omubiri gwange n’anywa n’omusaayi gwange, ng’afunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala n’omusaayi gwange kye kyokunywa ddala. Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye. Nga Kitange eyantuma bw’ali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange. Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe."
ne yeebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’agamba nti, "Guno mubiri gwange, oguweebwayo ku lwammwe, mugutoole mulye, mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga." Era mu ngeri y’emu bwe baamala okulya, yaddira ekikompe n’agamba nti, "Ekikompe kino y’endagaano empya ekoleddwa Katonda nammwe, ekakasiddwa n’omusaayi gwange, mutoole munywe, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaakinywangako okunzijukiranga." Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.
Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati n’okunywa ku kikompe.
Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.
A prática da Igreja
Desde os primeiros cristãos, a Ceia do Senhor é parte fundamental da vida comunitária da Igreja, celebrada com reverência e exame de consciência.
Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba.
Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera!
Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa.
Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati n’okunywa ku kikompe. Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga.