Sexo
A Bíblia trata a sexualidade como um presente de Deus para o contexto do casamento. As Escrituras celebram a intimidade conjugal e orientam sobre pureza e santidade sexual.
A sexualidade no plano de Deus
Desde a criação, Deus projetou a intimidade sexual como expressão de amor entre marido e mulher, abençoando a união conjugal.
Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,
mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;
n’abatonda omusajja n’omukazi.
Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, "Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi."
Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
Yesu n’abaddamu nti, "Temusomanga nti, ‘Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja n’omukazi,’ era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu, nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."
Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,
era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,
leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
A santidade na intimidade
O leito conjugal é honroso. A Bíblia celebra a alegria da intimidade dentro do casamento e orienta o casal ao amor e respeito mútuo.
Obufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.
Omusajja ateekwa okutuukirizanga eby’obufumbo byonna eri mukazi we era n’omukazi bw’atyo. Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza.
Naye bwe baba tebasobola kwefuga bafumbirwe, oba bawase, kubanga okufumbiriganwa kisinga okwakiriranga okw’okwegomba.
Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.
Temumanyi ng’emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule eby’omwenzi? Kikafuuwe. Oba temumanyi nti omuntu yenna eyeegatta n’omwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, "Bombi balifuuka omubiri gumu." Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.
Pureza sexual
Deus nos chama à santificação e à fuga da imoralidade. O corpo do cristão é templo do Espírito Santo e deve ser tratado com honra.
Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.
Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola.
Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe.
Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.
Tutambulenga ng’ab’omu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi n’obukaba, ne mu kuyombagana n’obuggya,
Toyendanga.
" ‘Tewabanga omuntu yenna mu mmwe ajja eri munne gw’alinako oluganda ne yeebaka naye. Nze Mukama.
" ‘Toleeteranga kitaawo buswavu ng’okola ebyensonyi ne nnyoko. Oyo ye maama wo eyakuzaala, teweebakanga naye ne mukola ebyensonyi, n’omuleetako obuswavu.
" ‘Teweebakanga na muka kitaawo ne mukola ebyensonyi, ekyo kireetera kitaawo obuswavu ne kimumalamu ekitiibwa.
" ‘Teweebakanga na mwannyoko, azaalibwa kitaawo, oba azaalibwa nnyoko, ne bwe muba nga mwakulira mu maka gamu oba nga temwakulira wamu, tomukolangako bya nsonyi okumuleetera obuswavu.
" ‘Teweebakanga na muwala azaalibwa mutabani wo, oba muwala w’omwana wo omuwala, n’okola naye ebyensonyi; ekyo ne kikuleetako obuswavu.
" ‘Teweebakanga na mwana wa muka kitaawo ow’obuwala eyazaalibwa kitaawo n’omukolako ebyensonyi; oyo mwannyoko. Tomuleeteranga bya buswavu.
" ‘Teweebakanga na mwannyina wa kitaawo n’okola naye ebyensonyi; oyo ne kitaawo ba musaayi gwe gumu.
" ‘Teweebakanga na muwala bwe bazaalibwa ne nnyoko n’okola naye ebyensonyi; kubanga oyo ne nnyoko ba musaayi gwe gumu.
" ‘Toweebuulanga muganda wa kitaawo, ng’olaga eri mukazi we weebake naye mukole ebyensonyi; oyo maama wo omuto.
" ‘Teweebakanga na muka mutabani wo ne mukola ebyensonyi; kubanga oyo ye mukyala wa mutabani wo; tomuleeteranga bya buswavu.
" ‘Teweebakanga na muka muganda wo ne mukola ebyensonyi, kubanga ekyo kinaaleeteranga muganda wo obuswavu.
" ‘Teweebakanga na mukazi ate ne muwala we n’okola nabo ebyensonyi. Era teweebakanga na mwana muwala owa mutabani wa mukazi oyo oba na mwana muwala owa muwala we; kubanga abo ba musaayi gwe gumu n’ogw’omukazi oyo. Ekyo kibi kinene.
" ‘Toleetanga mukazi nga muganda wa mukyala wo ne badda mu kuvuganya, era ne weebaka naye ne mukola ebyensonyi nga mukyala wo akyali mulamu.
" ‘Tosembereranga mukazi ng’oyagala weebake naye omukoleko ebyensonyi ng’ali mu kiseera kye ekya buli mwezi eky’okuvaamu omusaayi mw’abeerera atali mulongoofu.
" ‘Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, n’akuleetera obutali bulongoofu.
" ‘Mu baana bo towangayo n’omu ng’ekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama.
" ‘Teweebakanga na musajja nga bwe wandyebase n’omukazi, ekyo kibi ekikyayibwa ennyo.
" ‘Tokolanga bya nsonyi ku nsolo kubanga ekyo kinaakufuulanga atali mulongoofu. Omukazi teyeewangayo eri ensolo emukoleko ebyensonyi, okwo kwe kuwabira ddala.
Beeyita ab’amagezi ne bafuuka abasirusiru, ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula.
Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby’obugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okw’obuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe ey’obuzaaliranwa n’abasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa. Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri ey’obuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. N’ekyava mu bikolwa ebyo eby’obugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe.