Publicidade

Temor do Senhor

Por Bíblia Online

O temor do Senhor é o princípio da sabedoria. Não se trata de medo, mas de reverência profunda, respeito e admiração diante da santidade e grandeza de Deus.

O princípio da sabedoria

A Escritura afirma que temer ao Senhor é o primeiro passo para a verdadeira sabedoria. Quem teme a Deus discerne o certo e aprende a viver com prudência.

Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera

era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.

Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.

"Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,

era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,

n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.

N’agamba omuntu nti,

‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,

n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ "

Okutya Mukama kirungi,

era kya mirembe gyonna.

Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,

era bya butuukirivu ddala.

Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,

okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.

Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,

okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.

Ebyo bye birabula omuddu wo,

era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.

Bênçãos do temor

Quem teme ao Senhor encontra vida longa, provisão e proteção. O temor de Deus nos guarda do mal e nos conduz à humildade.

Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu

y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.

Okutya Mukama kuwangaaza omuntu,

naye emyaka gy’ababi girisalibwako.

Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu,

kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.

Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa,

n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.

Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna,

naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.

Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!

Balina omukisa abaddukira gy’ali.

Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,

kubanga abamutya tebaajulenga.

Vivendo no temor do Senhor

Temer ao Senhor é obedecer seus mandamentos, andar em seus caminhos e amá-lo de todo coração. Essa reverência se expressa em justiça e integridade.

Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.

"Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ng’otambuliranga mu makubo ge, era ng’omutya, ng’omussaamu ekitiibwa.

Muweereze Mukama nga mumutya,

era musanyuke n’okukankana.

Mujje wano baana bange, mumpulirize;

mbayigirize okutya Mukama.

Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,

okuba mu ssanyu emyaka emingi?

Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,

n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.

Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;

noonya emirembe era ogigobererenga.

Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi."

"Omuggavu w’amatu tomukolimiranga, so n’omuzibe w’amaaso tomuteganga nkonge w’anaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama.

Temuseeragananga; mutyanga Katonda wammwe, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.

"Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe. Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bw’atyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe.

"Kaakano mikwano gyange, temubatyanga abo abatta omubiri, naye ne batabaako kirala kye bayinza kukola. Naye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate n’okusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti oyo gwe musaanye okutyanga.

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-