Publicidade

Trabalho

Por Bíblia Online

O trabalho é uma ordenança divina desde a criação. Deus colocou o homem no jardim para cultivar e guardar, revelando que o labor é parte do propósito humano e um meio de glorificá-lo.

Trabalho como vocação divina

Deus nos criou para trabalhar com propósito. O trabalho é expressão da imagem divina em nós e deve ser feito como para o Senhor.

Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu,

Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo;

Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

Muweerezenga n’omutima omulungi ng’abakolera Mukama waffe so si ng’abakolera abantu, nga mumanyi ng’ekirungi kyonna omuntu ky’akola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi.

Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda.

Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.

Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.

Diligência e recompensa

A mão diligente enriquece, mas a preguiça traz pobreza. A Bíblia valoriza o esforço honesto, dedicado e perseverante em toda obra.

Emikono emigayaavu gyavuwaza,

naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.

Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi,

naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.

Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi,

naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.

Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba,

naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.

Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;

fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.

Tebirina mukulembeze,

mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,

kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,

ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.

Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?

Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?

Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,

n’okufunya emikono okuwummulako,

obwavu bulikutuukako ng’omutemu,

era n’obwetaavu ng’omutemu.

Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola,

waluganda n’oyo azikiriza.

Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala,

tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.

Ensimbi enkumpanye ziggwaawo,

naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.

Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga

era tagwongerako buyinike.Mukama

Planejamento e excelência

A excelência no trabalho honra a Deus. Devemos nos dedicar com competência, entregar nossos planos ao Senhor e buscar o melhor em cada tarefa.

Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama,

naye anaatuukirizanga entegeka zo.

Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama,

naye anaatuukirizanga entegeka zo.

Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe?

Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.

Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima.

Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima.

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi,

O contentamento no trabalho

Deus nos dá a capacidade de desfrutar do nosso trabalho. Poder comer, beber e encontrar satisfação em nosso labor é um dom divino.

Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu. Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda.

Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe.

Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.

Ababiri basinga omu,

kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.

nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina,

nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe,

ne yeebuuza nti, "Nteganira ani

ne neefiiriza essanyu?

Kino nakyo butaliimu,

era tekiriiko kye kigasa."

Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.

A responsabilidade cristã

O cristão deve trabalhar com suas próprias mãos, viver dignamente e ser exemplo de dedicação. Quem não trabalha, não coma.

Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga.

Kyokka tuwulira nti mu mmwe mulimu abagayaavu abatayagala kukola, aboonoona ebiseera byabwe mu kusaasaanya eŋŋambo. Mu linnya lya Mukama waffe, tubeegayirira era tubakuutira abali bwe batyo, okukolanga emirimu n’obunyiikivu n’obuteefu balyoke balyenga ebyo bye bakoleredde.

Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira, mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.

Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga.

Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi,

Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka. Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ng’amaze emirimu gye.

Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,

otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;

weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.

Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo?

Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi?

"Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange.

Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey’ekisa kya Katonda.

Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-