8 Naye njogera eri abo abatannawasa ne bannamwandu; kirungi okusigala nga bwe bali, era nga nze bwe ndi. 9 Naye bwe baba tebasobola kwefuga bafumbirwe, oba bawase, kubanga okufumbiriganwa kisinga okwakiriranga okw’okwegomba.
10 Naye abafumbo mbawa etteeka eriva eri Mukama waffe: omukazi tanobanga ku bba. 11 Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; n’omusajja tagobanga mukazi we.