2 Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda by’ayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okw’omubiri. 3 Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw’omwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala. 4 Kaakano abo abatakkiriza Katonda beewuunya era babavuma bwe balaba nga temukyabeegattako mu ebyo bye bakola. 5 Abantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu n’abafu ng’asinziira ku ebyo bye baakola. 6 Enjiri kyeyava ebuulirwa, n’abafu balyoke basalirwe omusango ng’abantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bw’ali.
7 Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda.