19 Awo Basuseba bwe yagenda eri Kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya, Kabaka n’agolokoka okumusisinkana, n’akutama n’oluvannyuma n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. N’atumya entebe ey’obwakabaka endala nnyina atuuleko2:19 Mu nsi ezo ez’obuvanjuba Nnabagereka yalina emirimu egy’obwakabaka gye yakolanga, era yali wa kitiibwa nnyo mu mpya za kabaka., n’atuula ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo.
20 Basuseba n’amugamba nti, "Nkusaba ekigambo kimu ekitono, era tokinnyima."
Kabaka n’amuddamu nti, "Kisabe, maama, nange siikikumme."