1 Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira. 2 Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. 3 Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, "Tulina emirembe era tulina obukuumi," amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.
Publicidade
Publicidade