5 "Amayengo ag’okufa ganzingiza;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
6 Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
7 Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
nakoowoola Katonda wange.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
n’okukaaba kwange kwamutuukako.