Publicidade

Atos 2

Okwogera kwa Peetero

14 Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, "Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize. 15 Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya! 16 Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,

17 " Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,

bw’ayogera Katonda,

ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;

n’abavubuka bammwe balyolesebwa,

n’abakadde baliroota ebirooto.

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-