26 Kabaka n’abuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, "Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, n’amakulu gaakyo?"
27 Danyeri n’addamu kabaka nti, "Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye. 28 Waliwo Katonda ow’omu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ez’enkomerero. Ekirooto n’okwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.