Okuwera Empisa ez’Ekikaafiiri
1 Muli baana ba Mukama Katonda wammwe. Temwesalangako misale oba enjola ku mibiri gyammwe, wadde okwemwangako enviiri ez’omu bwenyi nga mufiiriddwa14:1 okwemwangako enviiri ez’omu bwenyi nga mufiiriddwa egyo gyali mize gya kusinza balubaale., 2 kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Mu mawanga gonna ag’oku nsi, Mukama ggwe gwe yalondamu okuba eggwanga lye eddonde lye yeefunira.