13 Omusajja bw’aneewasizanga omukazi, kyokka oluvannyuma lw’okusula naye, n’amukyawa, 14 n’amuwaayiriza ng’amukonjera ng’agamba nti, "Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera," 15 Kitaawe w’omuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ng’omuwala waabwe yali mbeerera. 16 Kitaawe w’omuwala anaategeezanga abakulembeze abakulu nti, "Nagabira omusajja ono omwana wange omuwala amuwase, naye omusajja amukyaye. 17 Kaakano wuuno amuwaayiriza ng’amukonjera ng’amwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera." Naye obujulizi buubuno obulaga ng’omwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde b’omuwala banaayanjululizanga essuuka y’obuliri mu maaso g’abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo.
Publicidade
Deuteronômio 22
Amateeka ag’Enkolagana y’Abasajja n’Abakazi