13 Awo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru,
n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza.
14 Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,
naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.
Kyokka ne ntegeera
nga bombi akabi kabatuukako.
15 Ne ndyoka njogera mu mutima gwange nti,
"Ekyo ekigwa ku musirusiru nange kirintuukako.
Kale lwaki mbeera omugezi?"
Era na kino ne nkizuula
nga butaliimu.
16 Kubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera;
mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda.
Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.