Publicidade

Eclesiastes 4

Amaziga g’Abanyigirizibwa

1 Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.

Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,

era nga tebalina wakugabasangulako!

Ababanyigiriza baalina obuyinza,

kyokka nga tewali asobola kubagambako.

2 Ne ndowooza ku abo abaafa,

nga baali ba mukisa okusinga

abo abakyali abalamu;

3 naye abasinga abo,

y’oyo atannaba kuzaalibwa,

atannalaba bibi

obukolebwa wansi w’enjuba.

4 Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.

5 Omusirusiru awumba emikono gye,

ne yeezikiriza yekka.

6 Kirungi okuba n’emirembe emijjuvu

okusinga okujjula okubonaabona

n’okugoberera empewo.

7 Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:

8 nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina,

nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe,

ne yeebuuza nti, "Nteganira ani

ne neefiiriza essanyu?

Kino nakyo butaliimu,

era tekiriiko kye kigasa."

9 Ababiri basinga omu,

kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.

10 Kubanga singa omu agwa,

munne amuyimusa.

Naye zimusanze oyo ali obw’omu,

bw’agwa tabaako amuyimusa.

11 Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;

naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?

12 Omu awangulwa mangu,

kyokka ababiri bayinza okwerwanako.

Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.

13 Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa. 14 Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu. 15 Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w’enjuba nga bagoberera omuvubuka oyo ow’okulya obwakabaka. 16 Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.

Veja também

Publicidade
Eclesiastes
Ver todos os capítulos de Eclesiastes
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-