24 "Kibagwanira okugondera ebiragiro bino ng’etteeka, mmwe ne batabani bammwe emirembe gyonna. 25 Era bwe muliyingira mu nsi Mukama gy’alibawa nga bwe yasuubiza, temwerabiranga mukolo guno. 26 Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’ 27 Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ " Awo abantu ne bavuunama ne basinza.