5 Awo muwala wa Falaawo n’aserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lw’omugga; muwala wa Falaawo n’alaba ekibaya mu bitoogo, n’atuma omu ku bawala okukikima, n’akireeta. 6 Bwe yakisaanukulako, n’alabamu omwana. Omwana yali akaaba, n’amusaasira nnyo, n’agamba nti, "Ono y’omu ku baana abawere aba Baebbulaniya."
7 Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, "Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?" 8 Muwala wa Falaawo n’amuddamu nti, "Kale, genda." Omuwala mwannyina w’omwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana! 9 Muwala wa Falaawo n’agamba nnyina w’omwana nti, "Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga." Omukazi oyo n’atwala omwana n’amulera.