5 Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. 6 Mukama n’ayogera nti, "Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. 7 Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana."
8 Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. 9 Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.