10 Awo omu ku bo n’amugamba nti, "Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi."
Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we. 11 Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga z’abakazi. 12 Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, "Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?"