Pular para o conteúdo
Publicidade

Gênesis 39

7 Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebbanga eriwerako, mukyala wa mukama we namutunuulira n’okwegomba era n’amugamba nti, "Weebake nange." 8 Naye Yusufu n’agaana, n’agamba mukazi wa mukama we nti, "Laba, mukama wange yankwasa byonna ebiri mu nnyumba, n’abiteeka byonna mu mikono gyange, 9 era tewali n’omu ansinga mu nnyumba ye, tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okuyingira mu kwonoona okwenkanidde awo n’okusobya eri Katonda?" 10 Newaakubadde muka mukama we yamutayirira, Yusufu ye teyamuwulira na mulundi na gumu.

11 Naye lwali lumu Yusufu bwe yayingira mu nju okukola emirimu gye nga tewali n’omu mu nnyumba, 12 muka mukama we n’akwata ekyambalo kya Yusufu nga bw’agamba nti, "Weegatte nange." Yusufu n’amwesimatulako, ekyambalo kye ne kisigala mu ngalo z’omukazi wa mukama we. Ye n’adduka n’ava mu nnyumba.

Veja também