3 Lewubeeni ggwe mubereberye wange,
amaanyi gange, ebibala ebibereberye eby’amaanyi gange,
ekitiibwa n’obuyinza ebiyitirivu.
4 Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,
kubanga walinnya ekitanda kya kitaawo,
mu nnyumba yange, n’okyonoona.