12 Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu. 13 Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ng’ekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo n’omu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bw’ekibi.