Publicidade

Habacuque 2

Obulamu eri Abatuukirivu

1 Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera

ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu

nnindirire ky’aliŋŋamba,

era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.

2 Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,

"Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande.

Kuwandiike bulungi

ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.

3 Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.

Kwogera ku by’enkomerero

ate si kwa bulimba.

Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,

kujja kutuukirira, tekugya kulwa.

4 "Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,

naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe."

Akabi eri Aboonoonyi

5 Weewaawo, omwenge mulimba

guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako.

Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa.

Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta,

amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako

ne gugafuula abasibe.

6 "Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti,

" ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye!

Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’

7 Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,

era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza?

Oliba togudde mu mikono gyabwe?

8 Kubanga onyaze amawanga mangi,

abantu abasigaddewo balikunyaga;

Oyiye omusaayi gw’abantu,

n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu."

9 Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,

azimba ekisu kye waggulu,

okwekuuma obutatuukwako kabi!

10 Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,

n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.

11 Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,

n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.

12 Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,

atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.

13 Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye

nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro,

n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?

14 Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,

ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.

15 Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza

n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira

asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!

16 Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.

Naawe olinywa n’oswala.

Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli,

n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.

17 Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,

n’okutta ensolo, birikutiisa.

Osse abantu

n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.

18 "Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.

Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?

Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye

nga akola ebifaananyi ebitayogera!

19 Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’

agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’

Kino kisobola okuluŋŋamya?

Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,

so tekiriimu bulamu n’akatono.

20 Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:

ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge."

Veja também

Publicidade
Habacuque
Ver todos os capítulos de Habacuque
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-