6 Mukama Katonda n’amugamba nti, "Weewaawo, ali mu mukono gwo, kyokka mulekere obulamu bwe."
7 Awo Setaani n’ava awali Mukama Katonda, n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku mutwe, okutuukira ddala ku bigere. 8 Yobu n’atandika okweyaguzanga oluggyo ng’eno bw’atudde mu vvu.