Publicidade

Jó 25

Birudaadi Addamu

1 Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,

2 "Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;

ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.

3 Amaggye ge gasobola okubalibwa?

Ani atayakirwa musana gwe?

4 Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?

Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?

5 Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,

n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.

6 Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,

omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!"

Veja também

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-18_14-04-22-