Mukama Ayogera
1 Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,
2 "Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange,
n’ebigambo ebitaliimu magezi?
3 Yambala ebyambalo byo ng’omusajja,
mbeeko bye nkubuuza
naawe onziremu.
4 "Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi?
Mbuulira bw’oba otegeera.