Pular para o conteúdo
Publicidade

Yona 1:4,5,7,9,12,15,16

4 Awo Mukama n’aleeta omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’ekyombo Yona mwe yali ne kyagala okusaanawo. 5 Entiisa ey’amaanyi n’ekwata abalunnyanja bonna, buli omu n’akaabirira katonda we amuyambe, nga bwe basuula n’emigugu egy’ebyamaguzi mu nnyanja bakendeeze ku buzito obwali mu kyombo.

Mu kiseera ekyo, Yona yali mu tulo wansi mu ntobo y’ekyombo.

7 Awo abalunnyanja ne boogeraganya nti, "Mujje tukube obululu, tuvumbule omuntu yennyini avuddeko omutawaana guno." Ne bakuba obululu, akalulu ne kagwa ku Yona.

9 Yona n’agamba nti, "Ndi Mwebbulaniya; era nsinza Mukama, Katonda w’eggulu eyakola eggulu n’ensi."

12 N’abagamba nti, "Munsitule munsuule mu nnyanja ennyanja eneeteeka, kubanga esiikuuse ku lwange."

15 Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja eyali eyira. Amangwago omuyaga ne gusirika. 16 Abasajja ne batya nnyo Mukama, ne bawaayo ekiweebwayo gy’ali ne beeyama obweyamo.

Estes versículos te tocaram? Ore agora!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.

Jonas
Ver todos os capítulos de Jonas