Publicidade

Jonas 2

Okusaba kwa Yona

1 Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba 2 nti,

"Mu nnaku yange ennyingi

nakaabirira Mukama n’anziramu;

mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola,

era n’owulira eddoboozi lyange!

3 Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,

ne nzika, amayengo gonna,

ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta

ne bimbikka

ne binneetooloola.

4 Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa

mu maaso go;

Ddala ndiddayo nate

okulaba yeekaalu yo entukuvu?’

5 Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;

Amazzi nga ganneetoolodde

era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.

6 Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,

ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe.

Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya,

Ayi Mukama Katonda wange.

7 "Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika

ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda.

Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka

mu yeekaalu yo entukuvu.

8 "Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza,

beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!

9 Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,

ndikuwa ssaddaaka.

Ddala ndituukiriza obweyamo bwange

kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda."

10 Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.

Veja também

Publicidade
Jonas
Ver todos os capítulos de Jonas
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-15_21-32-39-