Obusungu bwa Yona n’Ekisa Kya Katonda
1 Naye Yona n’anyiiga nnyo. 2 N’alyoka yeemulugunyiza Katonda n’amugamba nti, "Kino ddala kye nalowooza, Mukama, bwe nnali mu nsi ye waffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa n’okunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano. 3 Kale nno nkwegayiridde Mukama nzita; okufa kisinga okuba omulamu."
4 Awo Mukama n’agamba nti, "Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga?"
10 Mukama n’amugamba nti, "Osaalirwa olw’ekibikka kyo ekyonoonese songa si ggwe wakimeza, ate nga kyo kyali kya kiseera buseera. 11 Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene n’abantu baamu emitwalo ekkumi n’ebiri n’okusingawo, n’ente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?"