41 Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, "Tulabye Masiya" (amakulu nti Kristo). 42 Andereya n’atwala Simooni eri Yesu.
Yesu bwe yeetegereza Simooni, n’amugamba nti, "Ggwe Simooni omwana wa Yokaana, kale onooyitibwanga Keefa," amakulu nti Peetero.