45 Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, "Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako."
46 Nassanayiri n’amuddamu nti, "Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?"
Firipo kwe kumuddamu nti, "Jjangu weerabireko."
47 Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, "Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa."
48 Nassanayiri kwe kumuddamu nti, "Ontegedde otya?"
Yesu n’amugamba nti, "Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini."
49 Nassanayiri n’amuddamu nti, "Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!"
50 Awo Yesu n’amugamba nti, "Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu. 51 Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu."