Okufa kwa Laazaalo
1 Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali. 2 Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze. 3 Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, "Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo."
4 Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, "Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa." 5 Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali 6 n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali. 7 Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, "Tuddeyo e Buyudaaya."
8 Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, "Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?"
9 Yesu n’abaddamu nti, "Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba. 10 Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye."
11 Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, "Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa."
12 Abayigirizwa ne bamugamba nti, "Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka." 13 Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.
14 Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, "Laazaalo afudde.