7 Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli. 8 Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango, 9 kubanga tebanzikkiriza, 10 olw’obutuukirivu kubanga ŋŋenda eri Kitange era temukyandaba, 11 n’olw’omusango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.
Publicidade
Publicidade