Pular para o conteúdo
Publicidade

Yokaana 20

Yesu Alabikira Abayigirizwa be

19 Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ng’enzigi nsibe olw’okutya Abayudaaya, Yesu n’ajja n’ayimirira wakati mu bo. N’abagamba nti, "Emirembe gibe mu mmwe." 20 Bwe yamala okwogera ebyo n’abalaga ebibatu bye n’embiriizi ze. Abayigirizwa bwe baalaba Mukama ne basanyuka nnyo.

21 N’addamu nti, "Emirembe gibe mu mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe." 22 Bwe yamala okwogera ebyo n’abassiza omukka, n’abagamba nti, "Mufune Mwoyo Mutukuvu. 23 Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa."

Veja também