Yesu Alabikira Abayigirizwa be musanvu
1 Ebyo bwe byaggwa, Yesu n’alabikira nate abayigirizwa be, ku nnyanja ey’e Tiberiya.21:1 ye Nnyanja ey’e Ggaliraaya Yabalabikira bw’ati: 2 Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, ne batabani ba Zebbedaayo, n’abayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu. 3 Simooni Peetero n’abagamba nti, "ŋŋenda kuvuba." Ne bamugamba nti, "Ka tugende ffenna." Ne bagenda ne basaabala mu lyato. Naye ekiro ekyo kyonna ne batakwasaayo kintu.
4 Bwe bwali bukya, Yesu n’ayimirira ku lubalama, naye abayigirizwa ne batamutegeera.
5 Yesu n’ababuuza nti, "Abaana, mukwasizzaayo?"
Ne baddamu nti, "Nedda."
6 Yesu n’abagamba nti, "Kale musuule akatimba ku luuyi olwa ddyo olw’eryato, mujja ku kukwasa." Awo ne basuula, naye ne batasobola kukannyulula olw’ebyennyanja ebingi bye baakwasa!
7 Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga ennyo n’agamba Peetero nti, "Oyo Mukama waffe!" Simooni Peetero bwe yakiwulira ne yeesiba olugoye kubanga yali mu kakutu, ne yeesuula mu mazzi. 8 Abayigirizwa abalala bo ne bajjira mu lyato nga basika akatimba akaalimu ebyennyanja. Tebaali wala n’olukalu, baali nga mita kyenda. 9 Awo bwe baatuuka ne basanga omuliro ogw’amanda nga gwaka, nga kuliko ekyennyanja n’omugaati.
10 Yesu n’abagamba nti, "Muleete ku byennyanja bye muva okukwasa kaakano."
11 Awo Simooni Peetero n’agenda n’awalula akatimba n’akatuusa ku lukalu, nga kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Newaakubadde nga byali bingi bwe bityo naye akatimba tekaakutuka.