31 Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali beegayirira Yesu alye ku mmere, nga bagamba nti, "Labbi lya ku mmere." 32 N’abaddamu nti, "Nze nnina ekyokulya mmwe kye mutamanyi."
33 Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti, "Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?" 34 Yesu n’abaddamu nti, "Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe.