46 Yesu n’akomawo mu Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti ow’e Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde. 47 Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi n’okufa.
48 Yesu n’amugamba nti, "Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?"
49 Omukungu n’amugamba nti, "Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ng’omwana wange tannafa!"
50 Awo Yesu n’amugamba nti, "Ggenda mutabani wo awonye!" Omusajja n’akkiriza Yesu ky’amugambye n’agenda.
51 Naye bwe yali ng’akyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti mutabani we awonye. 52 N’ababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, "Jjo olw’eggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!"
53 Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, "Mutabani wo awonye." Awo omukungu oyo n’ab’enju ye bonna ne bakkiriza.
54 Kino kye kyamagero ekyokubiri Yesu kye yakola ng’akomyewo e Ggaliraaya ng’avudde e Buyudaaya.