48 Nze mmere ey’obulamu. 49 Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa. 50 Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa. 51 Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange."